TOP

Express ekyalwana butasalwako

Added 20th February 2018

EXPRESS ekyalidde Bright Stars e Mwererwe mu Wakiso ng'enoonya buwanguzi etangaaze emikisa gy’okusigala mu liigi ya babinywera.

 Abdu Mayanja owa BIDCO (ku kkono) ng'asala Joseph Ssemuju owa Express wiiki ewedde. Express yawangula (2-0).

Abdu Mayanja owa BIDCO (ku kkono) ng'asala Joseph Ssemuju owa Express wiiki ewedde. Express yawangula (2-0).

Bya HUSSEIN BUKENYA NE REBEECA NAKIWEEWA

Soana - Kirinya Jinja, e Kavumba 10:00

Bright Stars-Express e Mwererwe 10:30

Vipers - Mbarara City e Kitende 10:30

Onduparaka-BIDCO, Arua 10:30

Police-UPDF, Namboole 10:30

Wabula erina okugenda ng'enywedde kuba Bright Stars tesaagira mwayo, era bukya liigi etandika ttiimu emu yokka (Maroons 1-0) ye yali egikubiddeyo.

Ekizibu kya Express kya butawangulira ku bugenyi nga mu mipiira omunaana gy'ekyadde ewangudde Proline yokka (2-0). Ng'oggyeeko eky'obutawangula, ne ggoolo za Express ku bugenyi za kkekwa (erina 2 zokka), sso nga Bright Stars eteebye mu mipiira etaano ku munaana gy'ekyazizza.

Kino kituma batabani ba Shafi q Bisaso okulinnyisa ggiya bwe baba baakufuluma kisaawe n’obubonero obusatu.

Express eyingira omupiira guno nga y'eddiridde asembye mu liigi (ya 15 ku ttiimu 16) nga singa teguwangula, ate UPDF bwe balwana obutasalwako n’ekuba Police, y'ejja (Express) okukoobera.

Ku Lwomukaaga, Express yawanduse mu Stanbic Uganda Cup oluvannyuma lw’okukubwa Kitara FC.

Bisaso yagambye nti olutalo lwe baatandikako bwe baawangula (BIDCO 2-0), ne leero lugenda kugenda mu maaso.

"Tukimanyi nti Bright Stars si nnyangu omwayo naye tugenda kulwana masajja tuveeyo n’obuwanguzi," Bisaso bwe yagambye. Ye Paul Kiwanuka, agenda okubeera mu mitambo gya Bright Stars (Fred Kajoba abadde agitendeka yagenze kusoma mu Amerika), yagambye nti: " Ttiimu yange nayo erwanyisa kyambe era eyagala buwanguzi bwokka."

Bright Stars ya 12 nga bw'ekubwa ebyayo nabyo byongera okubijja VIPERS-MBARARA CITY, KITENDE Guno gwe mukisa Vipers gw'eyagala okukozesa okulinnya ku ntikko singa ewangula Mbarara City.

Vipers erina obubonero 32 nga bw'ewangula egenda ku 35, Villa esigale ku 33 ne KCCA ku 32. Mu kaseera kano, Vipers y’emu ku ttiimu eziri ku mutindo omulungi okuva Eddie Butindo lwe yagyegattako.

Abazibizi ba Mbarara City balina okwegendereza Milton Karisa, Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma ne Erisa Sekisambu olw'omutindo gwe baliko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...