
Bannamukisa bataano bawangudde akalulu ka ENOC Dubai Desert Challenge nga be bamu ku bagenda mu ggwanga lya Dubai omwezi ogujja okuvugira mmotoka mu ddungu.
Akalulu akakwatiddwa ku ssundiro kya City Oil e Nakawa kabaddemu bonna bonna abajjuza obukonde nga bakoledde saavisi w’emmotoka zaabwe ku masundiro ga City Oil e Nakawa, Namirembe Road, Bombo Road ne Kibuye omwezi oguwedde.
Bano bawezezza abantu 25 abaakawangula akalulu kano era nga basigazzaayo oluzannya lumu omwezi ogujja okuweza abawanguzi 30.
Abawanguzi b’olugendo lwe Dubai abataano kwe kuli Asia Nabisalo (nga ye mukazi owokubiri okuwangula), Shaban Matovu, Moses Kasule, Samuel Kyeyune ne Henry Kironde.
Abalala abawangudde ye Abdul Lwere awangudde amafuta ga 100,000/= so nga Moses Mivule, Haji Yusuf Gita ne Karim Nanzige buli omu awangudde ettu ly’ekirabo kya City Oil.
Akaluli kano kateekebwamu ensimbi aba City Oil ne kkampuni ye Dubai eya ENOC.
Pulezidenti wa USPA, Sabiiti Muwanga y’abaddewo okukwata akalulu kano ku ssundiro lya City Oil e Nakawa.