
Fefe Busi, Roden Y, Vinka, B2C, Voltage, Lydia Jazmine (eyava mu mpaka za ‘Coke Studio’) ne Fik Famaika (eyayimba ‘Kutama’ olukutte Bannayuganda omubabiro ennaku zino), be bagenda okusanyusa Bannayuganda nga boota buliro ekikopo kya World cup.
Kkampuni ya Coca Cola y’ewoomye omutwe mu kuleeta ekikopo kino mu Uganda ng’era yaakuteekawo emizannyo egy’enjawulo ku lunaku olwo.
Omuntu yenna okuyingira e Lugogo okulaba ku kikopo kino, kijja kumwetaagisa okugula eccupa ya Coca Cola kw’olwo.