TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abazannyi ba Express baloopedde ssentebe waabwe omuggya Hajji Hassan Bulwadde ebizibu bye babadde bayitamu

Abazannyi ba Express baloopedde ssentebe waabwe omuggya Hajji Hassan Bulwadde ebizibu bye babadde bayitamu

Added 27th February 2018

Abazannyi ba Express baloopedde ssentebe waabwe omuggya Hajji Hassan Bulwadde ebizibu bye babadde bayitamu

 Ssente wa Express Hajji Bulwadda ng'ayogera n'abazannyi ba Express

Ssente wa Express Hajji Bulwadda ng'ayogera n'abazannyi ba Express

Lwakutaano mu liigi

Express - Proline, e Wankulukuku

ABAZANNYI ba Express baloopedde ssentebe waabwe omuggya, Hajji Hassan Bulwadda nti obutawuliziganya na bakulembeze baabwe kye kimu ku bivuddeko ttiimu okuvuya.

Bulwadda, eyasikidde Minisita Florence Nakiwala Kiyingi yasisinkanye abazannyi ku Ssande, ku wooteeri ya 2K e Bukesa, okusala amagezi ku biyinza okuwonya ttiimu eno okusalwako.

Nga tebannatandika kuteesa omuzannyi omu yagambye nti: “Boosi tukwanirizza nnyo, era tukulinamu essuubi ddene, naye nkusaba ttiimu ogiwe obudde obumala kuba ekimu ku bitulemesezza okukola obulungi kwe kuba nga mukama waffe tubadde tulwawo okumulaba nga ne bwe tufuna ekizibu tukyemalira.

” Steven Luswata, eyakoze nga kapiteeni olwa David Ndihabwe obutabaawo, yategeezezza Bulwadda nti wadde ttiimu ekoobedde, ekyasobola n’okumalira mu bifo 10 ebisooka, singa akola ebinazza mu bazannyi amaanyi, n’okubawa ebikozesebwa mu budde. “Okuwangula emipiira 7 egy’omuddiring'anwa kyangu nnyo singa tukwatagana bulungi,” Luswata bwe yategeezezza.

Nelson Senkatuuka owa Bright Stars (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Ayub Kisaalita owa Express. Bright Stars yawangyula (2-1).

 

Abazannyi 17 n’abatendesi bonna abana, nga bakulembeddwa Shafi q Bisaso, baabaddewo era obwedda buli omu asituka ne yeeyanjula eri abakulu okwabadde omumyuka wa Bulwadda, Hajji Erias Sserunjogi Kamudaasi agenda n'okukulira akakiiko k'ebyekikugu, Hamza Jjunju ne Abaasi Byaruhanga.

Bulwadda yasabye abazannyi okwerabira ebibaddewo kuba agenda kukola buli kyetaagisa okulaba nga ttiimu ewona okusalwako. "Omulimu omukulu ogwampeereddwa gwa kusooka kuwonya ttiimu kusalwako, ebirala bijja kugoberea oluvannyuma.

Njagala muzannye n’omutima gumu tulabe nga tuva mu mbeeera y’okuswala gye tulimu,” Bulwadda bwe yategeezezza. Sserunjogi, nga y’omu ku babadde abamyuka ba Nakiwala, yategeezezza nti ttiimu yaabwe ebadde n’ebizibu bingi wabula bagenda kubiteeka ku bbali balwane. “ Tetukyebaka, era okuweera nga tukung'aanyizza obubonero obutuwonya ekyambe,” Sserunjogi bwe yategeezezza .

Singa Express teyeerwanako, yandisalwako omulundi ogusooka mu byafaayo. Ku Lwokutaano, Express ezannya Proline e Wankulukuku mu mupiira gw'erina okutandikirawo okuwangula okusigaza emikisa gy’okuwonaekyambe. Abazannyi eggulo lwe bazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lw'ennaku ttaaano nga bawummudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...