TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Express ne Proline buli omu alwana kuwona kyambe

Express ne Proline buli omu alwana kuwona kyambe

Added 2nd March 2018

BULI mupiira Express ne Proline gwe zizannya gufaanana nga fayinolo kuba zombi zeetaasa kyambe.

 Bisaso ne Mujib Kasule

Bisaso ne Mujib Kasule

Maroons - Vipers e Kitende, 10:00 (guli ku TV)

Express -Proline e Wankulukuku, 10:30

Express yekoobedde ku bubonero 15, ate Proline ya 13 ku 17, na nayo bw'eteerwanako eyinza okusalwako.

Ttiimu zombi zittunka leero (Lwakutaano) mu Azam Uganda Premier League mu kisaawe e Wankulukuku, era buli emu buno obubonero bw'etunuulidde okutandika ku lugendo lw'okuwona okuzannyira mu Big League sizoni ejja.

Proline ekubiddwa emipiira etaano egisembyeyo sso nga Express mu mipiira gye gimu ewanguddemu gumu n’okulemagana gumu.

EMIKISA GYA BULI TTIMU

Buli ttiimu ebeera n’enkizo mu maka gaayo, wabula ku Express si bwe kiri kuba emipiira mwenda gye baakakyalizza e Wankulukuku, bawanguddeko esatu ne bakubwa ena n’okulemagana ebiri.

Wabula enkizo ya Express eri nti bukya sizoni eno etandika, Proline tewangulirangako ku bugenyi, sso nga n'okuteeberayo kizibu. (Yakateeberayo ggoolo ssatu).

BWE BEETEGESE

Express bwe yabadde etendekebwa ku Lwokusatu, omutendesi Shafiq Bisaso yalonze ttiimu bbiri ne zizannya okufaananako abazannya ogw’okwegezaamu wabula ekizibu ky'okuteeba era kye yolese nga kikyaliwo.

Joseph Semuju ne Alfred Aleku baabadde mu ttiimu emu kyokka eddakiika 90 zaaweddeko nga bateebye ggoolo emu yokka, ate yo ttiimu endala teyafunyeeyo ggoolo.

Bisaso yagambye nti: “Buli mupiira guba n'enteekateeka yaagwo. Ekya ggoolo obutanywa leero tekitegeeza nti ne ku Proline zijja kugaana kuba obukodyo ng'enda kubukyusa” Bisaso bwe yategeezezza.

Yakunze abawagizi okugenda mu bungi e Wankulukuku kuba obuwagizi bwabwe bukola kinene nnyo okuzzaamu abazannyi amaanyi.

Mujib Kasule, nnanyini Proline era nga y’agitendeka, yagambye nti omupiira guno mukulu nnyo gy’ali. "Kituufu tuludde okuwangula naye guno tugenda kugufiirako kuba tuli mu matigga,” Mujib bwe yategeezezza.

Yalabudde Bisaso, eyaliko omukozi we mu Proline nti okudda kwa basitta be; Ivan Bukenya, Sula Matovu ‘Maloda’, Simon Mbaziira ne Dan Isiagi kubongedde amaanyi.

VIPERS NE MAROONS E KITENDE

Maroons, eyaakamala emipiira 14 nga tekubiddwa (yasemba kuwangulwa Express mu September w’omwaka oguwedde), ekyaza Vipers e Luzira.

Ekiteeka ebbugumu mu mupiira guno kwe kuba nga ne Vipers omutindo gwayo mulungi kuba ewangudde emipiira etaano egy'omuddiring'anwa.

Vipers eri mu kyakubiri, nga bw'ewangula egenda waggulu wa ttebo.

Asaph Mwebaze atendeka Maroons yagambye nti ttiimu ennene tezimuwa buzibu kuba abazannyi babeera babagoberera nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu