TOP

Omutindo gwa Ronald Musagala gumulemeseza eza Austria

Added 2nd March 2018

Omutindo gwa Ronald Musagala gumulemeseza eza Austria

 Mugasala wakati ng'aleebya banne gye buvuddeko

Mugasala wakati ng'aleebya banne gye buvuddeko

Bya TEDDY NAKANJAKO

BASAJJA 1500

1 03:40.62               MANANGOI - George    KENYA
2 03:41.04               CHEPTEGEI - Joshua       UGANDA
3 03:41.65               MPHAHLELE - Ryan          THEMBISA ATHLETICS CLUB
4 03:41.69               MUSGALA - Ronald         UGANDA
 
ABAKAZI 800m
1 2:01.44  NAKAAYI - Halimah         UGANDA
2 2:02.84  NANYONDO - Winnie     UGANDA
3 2:03.56  LOFSTRAND - Gena         FAST FEET TRACK CLUB KZN

EKIROOTO kya Ronald  Musagala okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Commonwealth eginaayindira mu kibuga Gold Coast ekya Australia omwezi ogujja kyafuumuse bwe yalemereddwa okutuusa obudde obwetaagisa. 

Musagala ne banne bwe bava mu kiraabu ya UWA Halimah Nakaayi ne Winnie Nannyondo ku Lwokutaano ekiro baabadde mu nsiike wamu ne Joshua Cheptegei ne Abel Siwokwo baabadde  mu mpaka za Athletix Grand Prix Series mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika nga basatu ku bbo baagala okutuusa obudde obwetaagisa mu Commonwealth. 

Harimah

Wadde teyasobodde kutuusa budde oluvannyuma lw’okumalira mu kyokuna ng’aziddukidde 3:41.69 (baagala 3:37.00) yavuddeyo n’ensimbi z’e South Afrika rand 4000 eza Uganda 1,220,000 ate Cheptegei eyakutte eky’okubiri n’afuna rand 10,000 eza Uganda 3obukadde busatu.   

Mu kisera ky’ekimu Halimah Nakaayi yabadde mu bire oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti atuusizza obudde obumwetaagisa okuteekebwa ku ttiimu egenda mu Australia mu mizannyo gya Common wealth.   

Nakaayi abaabadde basindana ne munne Winni Nannyondo eyatuusa edda obudde mu misinde gya 800, yaziwangulidde mu ddakiika 1:01.44 ne kavvu wa rand 20,000 eza Uganda obukadde mukaaga ate Nannyondo n’akwata ekyokubiri ne kavvu wa rand 10,000.   Kati abaddusi 11 be batuusizza obudde obwetaagisa mu Commonwealth.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...