TOP

Katikkiro atongozza enteekateeka y'emisinde gya Kabaka

Added 14th March 2018

Katikkiro atongozza enteekateeka y'emisinde gya Kabaka

 Katikkiro ng'atongoza enteekateeka y'emisinde gya Kabaka olwaleero mu Bulange e mmengo

Katikkiro ng'atongoza enteekateeka y'emisinde gya Kabaka olwaleero mu Bulange e mmengo

EMISINDE egiddukibwa okukuza amazaalibwa ga Kabaka gitongozeddwa enkya ya leero mu Bulange Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’atongozza emisinde gino egy'okubaawo mu april 8 mu lubiri e Mmengo 

Katikkiro agambye nti emisinde gino bye bimu ku bikujjuko kya Jubileewo (Jubillie) egigenda okuweza emyaka 25 nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi alamula Obuganda ng’entikko yaagyo yaakubeera mu kigo e Viila Maria mu Kalungu e Buddu nga April 13.

Katikkiro ategeezezza nti emisinde gino gy'akuyamba ku kukendeeza obulwadde bwa Nnalubiri (Sickle Cells) obweriisa enkuuli mu ggwanga ensangi zino.

“Gino misinde gya mulundi gwa kutaano okutegekebwa Obwakabaka okujjukira amazaalibwa ge. Twatandikira ku kuyamba abalwadde ba Fisitula (ekikulukuto) kwe tuzzizza obulwadde bwa Nnalubiri,” Katikkiro bw’ategeezezza.

Agambye nti omulanga gwe batandise kwe kulagira abagenda okufumbirwa basooke beekebeze obulwadde buno bulijjo nga lye limu ku makubo ag’okubukendeeza ng’oggyeeko okujjanjaba okuli ku buwanana.

Asiimye abavujjirizi abangi abeetabye mu misinde gino n’abalala abagenda okweyongerako nti bajja kufunamu.

Bano kuliko, Vision Group, Airtel, Post Bank, Events Warehouse, MAADS Advertising, Rwenzori Water, CBS, BBS, Majestic Brands ne UBBER abaddukanya takisi ez’okupangisa nga bategeezezza nti abanaagenda okudduka baakutambulira bwereere.

Abategesi basuubira emisinde gino okwongera okukwata abantu omubabiro beeyongere obungi okuva ku 30,000 abadduka omwaka oguwedde.

Ye ssentebe w’akakiiko akategesi, Robert Kabushenga akulira Vision Group agambye nti baagala kukyusa emisinde egya kiromita 21 ku luno gifuuke gya 25 nga babala emyaka gya Jubileewo Kabaka gy’amaze ku Nnamulondo.

Abategesi baakufulumya entekateeka endala okusinziira ku Julius Luutu owa Events Warehouse abamu ku bategesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...