TOP

Bamusaayimuto babiisanya mu mpaka za Badminton

Added 16th March 2018

Abazannyi abasoba mu 300 okuva mu masomero 30 batandise okuvuganya mu mpaka za tteba ey’ekyoya ‘Badminton’ eza Taibah Schools Badminton Tournament nga basengekeddwa mu mitendera gy’emyaka 10, 13, 15 ne 19.

 Akulira essomero lya Taibah International School Oscar Semweya -Musoke (mu galubindi) ng'akwasa aba Ugnada Badminton Association ebikopo n'emijooozi ebinakozesebwa mu mpaka za Taibah Schools 2018 ezitandika nga March 16 e Lugogo. Ekif: Silvano Kibuuka)

Basookedde ku kusindanira mu ttiimu z’amasomero bazzeeko enzannya za sekinnoomu. 

Empaka zino kati ezibumbujjura mu Lugogo Indoor ze zimu ku zitumbudde omutindo gw’abazannyi ba ttena eno abakiiikiridde eggwanga mu myaka 17 gye zaakazannyirwa nga kino kye kimu ku buwalirizza akulira essomero lino, Oscar Semweya-Mukasa okuziteekamu ensimbi buli mwaka. 

Empaka zino zituukidde mu kiseera ekituufu eri omuzannyi Brian Kasirye omu ku bagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth Games mu kibuga Gold Coast ekya Australia omwezi ogujja. 

“Tetukoma ku kusomesa mu kibiina wabula n’okwongera omutindo gw’abayizi nga bayitira mu mizannyo nga y’ensonga lwaki tutadde ensimbi obukadde 10 mu mpaka zino ezizannyiddwa e Lugogo nga March 16-19,” Semweya-Mukasa bw’ategeezezza. 

Kasirye ye yawangudde empaka zino okwaka oguwedde era nga muza Uganda International yamalidde ku luzannya lwakubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...