TOP

Bapulo ba Cranes batandika leero okutuuka

Added 18th March 2018

Bapulo ba Cranes batandika leero okutuuka

 Mugabi

Mugabi

BEVIS Mugabi azannyira mu Yeovil Town eya League Two mu Bungereza, ye pulofeesono agenda okusooka okweyanjula mu nkambi ya Cranes eyeetegekera okuzannya emipiira gy’okwegezaamu.

Mugabi asuubirwa okutuuka leero (Ssande) yeegattibweko bapulo abalala 18 nga beetekera emipiira eginaabeerawo nga March 24 ne 27 mu kisaawe e Namboole. Mugabi eyazaalibwa mu Bungereza kyokka nga bazadde be Bannayuganda, guno mulundi gwakubiri ng’ayitibwa ku Cranes wabula mu gwasooka teyajja olwa ttiimu ye okumulemera ng’egamba nti FUFA yalwawo okugitegeeza.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti Mugabi ne Godfrey Walusimbi (Gor Mahia e Kenya) batuuka leero kyokka bapulofeesono abalala bonna basuubirwa kuggwaayo ku Mmande kuba omutendesi Sebastien Desabre ayagala abeereko nabo akaseera akawera. “Abazannyi bonna tubasuubira okuggwaayo ku Mmande kuba buli kimu ekyetaagisa kikoleddwaako era omutendesi alinze lunaku kutuuka. Emipiira gino mikulu nnyo naddala ng’omutendesi anoonya ttiimu eneevuganya obulungi mu z’okusunsulamu abaligenda mu z’Afrika mu September w’omwaka guno,” Hussein bwe yategeezezza.

Cranes yaakuttunka ne Malawi nga March 27 wabula ttiimu endala gye bagenda okuzannya nayo nga March 24 bakyayogerezeganya nayo okusinziira Hussein. Mu ngeri y’emu, Desabre yayongedde okuyita abazannyi abalala okuziba ekituli bya Farouk Miya ne Edrisa Lubega abaalangiridde nga bwe batagenda kulabikako mu mipiira gino. Fahad Bayo azannyira mu Buildcon (Zambia), Derrick Nsibambi ne Taddeo Lwanga be baayitiddwa mu bifo bino.

Miya yaakafuna ttiimu empya (Sebail eya Azerbaijani) nga yasabye omutendesi asooke amuwemu akadde adde ku ffoomu kuba abadde amaze ebbanga nga tazannya. Mu kibinja ‘L’ eky’okusunsulamu abalizannya e Cameroon mu z’Afrika omwaka ogujja, Cranes eri ne Lesotho, Tanzania ne Cape Mugabi Verde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...