TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu zibbingwa z'e Bulaaya ziswamye Salah

Ttiimu zibbingwa z'e Bulaaya ziswamye Salah

Added 20th March 2018

Barcelona yeewera nti Salah k'anaabeegattako, waakumuzannyisa ne Lionel Messi ku kyoto ate Real Madrid egamba nti Cristiano Ronaldo bw’aneegattibwako Salah, baakuba n’ekyoto ekisinga mu nsi yonna ate PSG, eyagala kumugutta ku Neymar.

 Mohamad Salah

Mohamad Salah

TTIIMU zibbingwa z’e Bulaaya, zeesimbye mu Mohamed Salah okumuggya mu Liverpool. Salah, afuuse ensonga mu Liverpool olwa ggoolo z’akuba kubula kuzimala mu magulu.

Mu Premier, yaakateeba ggoolo 28 mu mipiira 30 era alamuza ngatto ya sizoni. Kino kitanudde Real Madrid, Barcelona ne PSG okumugula mu Liverpool. Buli omu ataddewo ensimbi ezitamuluma eziyinza okumenya likodi y’omuzannyi asinga okugulwa ensimbi ennyingi.

Obukadde bwa pawundi obusoba mu 200, buli emu ku ttiimu zino ze ziteekateeka okussaawo, okumugula ayise Neymar ku ky’obuzannyi asinga ebbeeyi (eyagulwa obukadde bwa pawundi 198).

Barcelona yeewera nti Salah k'anaabeegattko, waakumuzannyisa ne Lionel Messi ku kyoto ate Real Madrid egamba nti Cristiano Ronaldo bw’aneegattibwako Salah, baakuba n’ekyoto ekisinga mu nsi yonna ate PSG, eyagala kumugutta ku Neymar.

Liverpool yagula Salah obukadde bwa pawundi 34 okumuggya mu Roma era Jurgen Klopp ayinza obutakkiriza kweggyako ssita wa ttiimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...