TOP

Abeebikonde bazzeemu okutabuka: Bayomba!

Added 25th March 2018

OKUNENENG’ANA mu bakulira omuzannyo gw’ebikonde (Uganda Boxing Federation) kuzzeemu buto mu kaseera abawagizi baabyo we babadde basuubirira nti embeera eteredde era omuzannyo gugenda kuddamu okutinta.

 David Ssemuju owa Uganda (ku ddyo) ng’atwalira Shadir Musa owa Tanzania eng’uumi mu mpaka za Bingwa wa Mabingwa e Tanzania gye buvuddeko.

David Ssemuju owa Uganda (ku ddyo) ng’atwalira Shadir Musa owa Tanzania eng’uumi mu mpaka za Bingwa wa Mabingwa e Tanzania gye buvuddeko.

BYA FRED KISEKKA

Okwawukanako n’emirundi egiyise okwerumaaluma bwe kubadde wakati w’ebiwayi ebibiri (ekya Moses Muhangi ne Keneth Gimugu) nga birwanira obuyinza, ku luno olutalo luli wakati wa Muhangi, pulezidenti wa UBF omuggya n’omumyuka we Fred Kavuma nga luva ku nsimbi n’obuyinza.

Okusika omugwa kwavudde ku nsimbi obukadde 340, NCS ze yawadde UBF okwetegekera emizannyo gya Commonwealth egigenda okubeera mu kibuga Gold Coast ekya Australia.

Ku nsimbi ezo, NCS yasooka kuwaako UBF obukadde 30 buyambeko ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ okwetaba mu mpaka za ‘Bingwa wa Mabingwa’ ezaabadde e Tanzania. Kigambibwa nti ssente zino zaateereddwa ku akawunti ya Kavuma, omumyuka wa Muhangi eyabadde alina okuteekerateekera ttiimu.

Ensonda zaategeezezza nti oluvannyuma lw’empaka, Muhangi yasabye Kavuma embalirira n’ensaasaanya ya ssente ezaamuweebwa kyokka n’atandika okwogeza ebirimi. Bwe baamubuuzizza oba ng’ebikozesebwa bye baamugamba okugulira ttiimu yabigula, Kavuma eby’okuddamu ne bimubula.

Ensimbi endala obukadde 310 bwateereddwa ku akawunti empya eya UBF nga March 12 kyokka nazo zirese Muhangi ne Kavuma tebakwataganye ku avunaanyizibwa okuziggyayo ne ddi lwe zirina okuggyibwangayo.

Muhangi agambye nti siwaakukkiriza kisanja kye kudda mu bizibu bye bimu eby’okubulankanya ssente n’obutaba bwerufu era Kavuma alina okuwa NCS ensaasaanya ya ssente ezaamuweebwa.

“Kituufu tulina obutakkaanya ne Kavuma wabula aleme kuwuddiisa bantu nti bulina ewalala we buva. Ekituufu kiri nti twamaze kumusaba embalirira ya nsimbi ezaamukwasibwa nga ttiimu egenda e Tanzania n’emulema okutuwa,” Muhangi bwe yagambye.

Wabula mu kwanukula, Kavuma yagambye nti tafunanga kiwandiiko kimusaba ensaasaanya era talina nsimbi zimubanjibwa kuba ezaamukwasibwa yazikozesa nga bwe kyalina okuba.

“Singa ttiimu teyeetaba mu mpaka, bandibadde batuufu okugamba nti ssente nazibulankanya. Nafunira ttiimu aw’okusula, okukola ku tikiti z’ennyonyi n’ebirala. Muhangi akkirize, obuzibu bwava ku kya kugaana kubongera ssente bwe baali e Tanzania kuba ze yali ansaba, nalaba nga za kwejalabya,” Kavuma bwe yagambye.

KIBULI BOXING CLUB YEEGAANYI MUHANGI;

Ng’obutakkaanya wakati w’ababiri bukyali awo, abakungu ba Kibuli-Mutajazi Boxing Club beegaanyi Muhangi nga bw’atabangako pulezidenti waabwe era yalondebwa mu bukyamu.

Basabye akakiiko ka NCS kasazeemu okulondebwa kwe ku bwapulezidenti bwa UBF mu nnaku musanvu oba si ekyo bagenda mu kkooti. Mu mateeka agafuga UBF, Pulezidenti okulondebwa alina okuba ne kiraabu gy’akulira oba emusembye okwesimbawo.

Ku kiwandiiko Bukedde kye yalabyeko, abakungu ba Kibuli-Mutajazi Boxing Club abakulembeddwaamu Eddie Ssekitooleko baayise mu bannamateeka baabwe Orima & Co. Advocates ne beekubira enduulu mu NCS ne bagamba nti Muhangi tabangako wadde mmemba waabwe era tebamumanyi.

Bagamba nti okwesimbawo yatyoboola akawaayiro 5, 6, 7 ne 9 mu ssemateeka wa kiraabu yaabwe n’akawaayiro 13(4) aka ssemateeka wa UBF akalambika engeri pulezidenti gy’alondebwamu.

GIMUGU AYAGALA OMUBALIRIZI WA GAVUMENTI ANOONYEREZE KU NCS;

Mu ngeri y’emu eyali pulezidenti wa UBF, Kenneth Gimugu yakwanze omubalirizi wa Gavumenti, John Paul Muwanga ekiwandiiko ng’ayagala anoonyereze ku kakiiko ka NCS ku nsimbi ze kazze kawa Fred Kavuma ne zibulako embalirira ennung’amu.

Okusiziira ku bbaluwa Gimugu gye yawandiise nga March 19, yasabye omubalirizi wa Gavumneti anoonyereze ku nsimbi obukadde 98, NCS ze yayisa ziweebwe abeebikonde mu bajeti ya 2016/2017, Gimugu z’agamba nti tebazirambangako wadde ye yali pulezidwenti.

Ono yasabye Muwanga anoonyereze ne ku nsimbi endala obukadde 137, Gimugu z’agamba nti NCS yaziwa Kavuma ttiimu y’ebikonde nga yeetegekera World Championship ezaali e Girimaani omwaka oguwedde ate nga Kavuma ye yali mwogezi wa UBF sso si muwanika.

Ensimbi endala obukadde 340 Gimugu agamba nti zaaweereddwa Kavuma.

NCS KY’EGAMBA;

Ssaabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi ebya Gimugu okusaba anoonyerezebweko abiyise bya kyewussa ng’agamba nti NCS tesobola kuwa muntu ssekinnoomu nsimbi bwe zityo n’ezissa ku akawunti eteri ya kibiina.

Muramagi awa Gimugu amagezi okukkiriza nti yaweebwa omukisa okuddukanya ebikonde n’alemwa okubikolera era akomye okuwuddiisa abantu.

“Ssente zonna ze tuzze tuwa ebikonde ziyise mu makubo matuufu tetusobola kwesiga muntu yenna ne tumukwasa ensimbi za Gavumenti okuggyako ebibiina,” Muramagi bwe yagambye.

Yagasseeko nti, “Emirundi mitono ate nga tumaze kukakasa nti waliwo ensonga ey’amangu lwe tuyinza okuwa abantu ssekinnoomu ssente oba okuzibawa mu mpeke. NCS terina buzibu kugibuulirizaako ku nsonga Gimugu gy’ayogerako.”

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...