
IKWAPUT
Fazirah Ikwaput, eyalya ekirabo ky’omukazi eyasinga okuzannya akapiira omwaka oguwedde, ayakiddewo mu liigi y’e Buyindi gy’azannyira ogw’ensimbi.
Ono yateebye ggoolo 5 mu mupiira gwe ogwokusatu mu liigi y’abakyala e Buyindi.
Kiraabu ya Gokulam Kerala Women FC ey’omu liigi y’abakazi e Buyindi, yakansa Ikwaput ne Ritah Nabbosa okuva mu Olila High School Women omwezi oguwedde wabula Nabbosa bwe yatuukayo n’afuna obuvune mu vviivi naye Ikwaput ataddewo omutindo oguggye ttiimu ye wansi ku kimeeza n’edda mu kifo ekyokusatu.
Gokulam Kerala yakubye Indira Gandhi Academy ggoolo 6-1 ng’endala yateebeddwa Anita Rawat ate Sumithra n’ateebera Indira Gandhi nga mu mupiira guno Ikwaput yalondeddwa ng’omusambi w’olunaku n’aweebwa ensimbi z’e Buyindi (Rupee) 5000 nga kati y’akulembedde abateebi ne ggoolo 5 mu mipiira 3 gye yaakazannya.
Ikwaput eyakulembera abateebi sizoni ewedde mu Uganda Cup w’abakakazi era ne bakiwangula yaleka Olila High School WFC ku ntikko y’ekibinja kya Elizabeth n’obubonero 23 mu mipiira 9.
Bya GERALD KIKULWE