TOP

'Kenya tugikubira Lugogo'

Added 7th April 2018

Ttiimu ya Kenya yakubye Uganda (1-0) mu mupiira gw'abakazi nga kati Uganda yeetaaga kuwangula ne ggoolo 2-0, mu mpaka z'okusunsulamu abaneetabamu mu kikopo ky'Afrika mu mupiira gw'abakazi.

 Omutendesi Bulega (ku kkono) n'omuzannyi Yudaya Nakayenze

Omutendesi Bulega (ku kkono) n'omuzannyi Yudaya Nakayenze

Ssande mu mupiira gwa bakazi
Uganda Crested Cranes - Harambee Starlets(Kenya)

Faridah Bulega, atendeka ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi Crested Cranes FC olufunye amawulire nti Harambee Starlets eya Kenya esudde abazannyi 5 ku ttiimu eyabasamba ku lwokusatu, n’awera okugyesasuza ne ggoolo eziwerako.


Harambee Starlets eya Kenya yawangula ensisinkano eyasooka ku lwokusatu ne ggoolo 1-0 era yatuuse mu ggwanga ku lwokutaano ku makya okudding’ana ne Crested Cranes mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu AWCON e Ghana mu November.


Harambee Starlets teyatambudde na bazannyi okuli; Esse Akida, Esther Nandika, Monica Karambu, Vivian Nasaka Makokha ne Wyncate Kaari ekiwadde Bulega amaanyi nti bagenda kuwangula, bagiyiteko.


“Omupiira guno si mwangu naye tulina okukozesa omukisa guno nti abamu ku bazannyi baabwe tebasobodde kujja ate tuli waka era ng’enda kwongera amaanyi ku lugoba oluteebi tusobole okwesasuza ne ggoolo eziwera,” Bulega bwe yakakasizza. Omupiira

Bya GERALD KIKULWE

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...