TOP

Wenger akitadde! Akkirizza okuva mu Arsenal

Added 21st April 2018

NNANNYINI wa Arsenal, Stan Kroenke ategeezezza nga bw’agenda okulangirira omutendesi omuggya bunnambiro oluvannyuma lwa Arsene Wenger, okulangirira nga bw’akoma sizoni eno okutendeka Arsenal.

 Wenger

Wenger

Ku makya g’eggulo (Lwakutaano) ku ssaawa 5:30 e Kampala, Wenger, ku mukutu gwa Arsenal yalangiridde nga bw’agenda okukoma sizoni eno okutendeka ttiimu, gy’agamba nti gy’abadde asinga okwagala mu bulamu bwe.

EBIGAMBO BYA WENGER EBISIIBULA;

Oluvannyuma lw’okwekkeneenya buli kimu n’enkiiko ezitudde, nzikkiriza nti kano ke kaseera akatuufu akw’okuva ku butendesi bwa Arsenal. Ndi musanyufu nnyo olw’omukisa gwe nafuna okutendeka ttiimu eno n’ebirungi enkuyanja ebitagenda kunva ku mutima. Ttiimu eno ngissaamu nnyo ekitiibwa.

Njagala okwebaza bakozi bannange, abazannyi, badayirekita n’abawagizi abaafuula ttiimu eno ey’enjawulo. Nkubiriza abawagizi baffe okuyimirira emabega wa ttiimu yaffe emaleko sizoni ng’eri waggulu. Mwenna abaagala Arsenal, mulwaniririre nnyo ekitiibwa kyayo. Obwagazi bwange eri Arsenal tebuliggwaawo.

NANNYINI TTIIMU KY’AGAMBA

Stan Kroenke yalaze okunyolwa olwa Wenger okugenda n’agamba nti, “Kano ke kaseera akasinga okuba ak’omutawaana mu bulamu bwaffe bukya tuyingira emizannyo. Nnina ttiimu nnyingi mu mizannyo egy’enjawulo naye mbadde sifunanga ku ncukwe bw’eti.

Emu ku nsonga lwaki nasalawo okugula Arsenal yali ya Wenger. Engeri gy’akwatamu ttiimu ku kisaawe n’ebweru waakyo yeesiimisa. Tugenda kukola ekisoboka tufune omutendesi omuggya mu bwangu tusobole okukuuma erinnya lyaffe.”

EBITONOTONO KU WENGER

  • Yajja mu Arsenal mu 1996/97Alina Premier 3 nga 1
  • yagiwangula takubiddwaamu.
  • Awangudde FA Cup 7.
  • Asisinkanye ttiimu 124 ng’ali mu Arsenal.
  • Ttiimu 5 zokka ze zimulemye okuwangulako Fiorentina, PAOK, PSG, Port Vale ne Rotherham.
  • Tawanguddeko ku Champions League okuggyako okutuuka ku fayinolo mu 2006.
  • Atendese emipiira gya Premier 823, awanguddeko 473, agudde amaliri 199, bamukubye 151.
  • Alina omwana omu nga muwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo