TOP

Nakivubo tafuuka ekisaawe ky'e Lugogo ekyagaaniddwa CAF

Added 26th April 2018

OKUGAANIBWA kw'ekisaawe kya KCCA FC okukyalizaamu emipiira gy’ebibinja bya CAF ssaako n’ekya St Mary’s Kitende kyongera okulaga nti abakungu bangi mu CAF bamulyansimbi era ba kibogwe!

Wiiki ewedde, nakubidde pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo essimu ne mmubuuza oba ekya CAF okugaana ekisaawe ky’e Lugogo n’eky’e Kitende okukyalizaamu emipiira KCCA FC gy’egendako tekimuswazizza nga y’omu ku baakiriko n’eyali ssentebe waayo, Julius Kabugo Magogo yanzizeemu bwati, "Bannange nange nnwaanyeeko ekimala naye omusajja wa CAF yabuuzizza nti singa KCCA FC etuuka ku fayinolo awo wategekebwawo omukolo? Nange ne nkoteka omutwe era nakkiriza nti ekintu kiri kimu, tulina okuzimba ebisaawe ebiri ku mutindo."

Yayongeddeko nti omulimu ogugwe nga pulezidenti ku kisaawe ky’e Lugogo gwali gwa kumatiza FIFA kutuwa kiwempe n’okumatiza ekitongole ng’ayita mu Nnankulu Jennifer Musisi okukkirizza ekiwempe.

“Abazimba ebisaawe batandike okutunuulira ku bisaawe ebirala kubanga ne Namboole wadde akkirizibwa alimu ebibulamu ebirina okutereezebwa noolwekyo, saaswadde ng’omuntu wabula nga eggwanga,” Magogo bwe yagasseeko.

Ababadde batagoberera nsonga, omukungu wa CAF, Anthony Baffoe yatumibwa CAF yekkaanye ekisaawe ky'e Lugogo oluvannyuma lwa KCCA FC okuyitamu okuzannya emipiira gy’ebibinja mweri ne Esperance eya Tunisia, Al Ahly eya Misiri ne Township Rollers eya Botwasana.

Oluvannyuma lw’okukirambula yazuula nti tekiri ku mutindo gwa CAF, bwe baamujurizza ekya St Mary’s Kitende nakyo n'akigaana nga mulimu bingi ebibulamu wano Namboole we yafunidde omukisa kuba ye wa ttulu mu bamuzibe.

Omusomi wange njagala weebuuze nti abakungu abazze bava mu CAF ne bayisa ebisaawe eky'e Lugogo ne kizannyirwamu n’emipiira ogwa CNaps eya Madagascar n’ogwa St George eya Ethiopia n’ekya St Mary’s Kitende, babaddenga ba ndali, bamulyansimbi oba ba kibogwe?

Abagoberera omupiira mujjukire nti ne sizoni eyayita, KCCA FC mu kisaawe kye kimu mwe yakyaliza Mamelodi sundown eya kapiteeni wa Cranes, Dennis Onyango n’emipiira emirala mingi egiri ku ddaala lya CAF, kiki ekikyuseewo omukungu Baffoe kye yalabye?

Wadde abakungu aba CAF abaalabirira enzimba y’ekisaawe ky'e Lugogo saabamanya kuba nnali bweru wa ggwanga ku misomo, ekya St Mary’s Kitende CAF yakisindikako ssaabawandiisi wa CECAFA, Nicholas Musonye n’akola lipoota ‘ennyuvu’ ne kiyisibwa era Vipers yasambiramu n’emipiira gya CAF.

Ekyewuunyisa tewali mukungu wa CAF wadde Musonyi yakiraga mu lipoota nti tubakkirizza muzannyiremu naye mulina okwongera okutereeza kubanga kino singa kyakolebwa, CAF yandibadde ntuufu okugaana ebisaawe bino kati nga tewali kyongeddwaako.

Okugaanibwa kw'ebisaawe bino ebibiri, kukwata ne ku Nakivubo War Memorial Stadium era y’ensonga lwaki naakawandiika emiko etaano ku nsonga za Nakivubo kubanga kiribika kitya ng'abaakizimba bakiwaddeyo eri minisitule nti kiwedde kyokka FIFA ne CAF ne bakigaana?

Nakivubo bw’aba waakuzimbibwa ku mutindo gwa CAF ne FIFA ng'anaasobola n’okukyaza emipiira gya Cranes, abazimbi balina okweyambisa FUFA ebasabire abakugu okuva mu mawanga agatali ga ku muliraano abaataagambe nti ekisaawe kirungi ate bwe basindika owa Morocco oba Misiri n’akigaana nga bwe tulabye ku Lugogo ne St Mary’s Kitende.

Nakivubo bw’aba taasobole okuzimbibwa ku mutindo gwa FIFA ne CAF, Uganda eba esigazza Namboole yokka ate nayo abakugu bagamba nti lwakuba kye kiriwo mu ggwanga bingi ebikibulamu.

Ekisinze okwonoona Namboole be bakungu abasinga okuba ab’ekibogwe era singa nnina obuyinza, boodi nandibadde nagigoba dda, terina njawulo na ya NCS eyatutte abakungu 9 mu Commonwealth nga nayo eringa etwala abaddusi baayo.

Namboole atonnya, talina kyapa, alinga atalina bakulembeze. Pulezidenti Museveni bw’aba atuusizza okuzimba ebisaawe nga bwe yasuubiza nti alina obuwumbi 110 ku bbali, asaanye afune abakugu okuva ebweru kubanga aba wano baagala nnyo okulya omulimu okusinga okulya ku mulimu, ani ayinza okunnyonnyola lwaki ekisaawe ky'e Lugogo kiri bwe kityo?

Omugenzi Paul Muwanga olumu yagamba nti omuntu bwalwa ennyo mu kivundu atuuka ekiseera nga takyakiwulira bwe batyo n’abakulembeze b’ebyemizannyo naye nga si bannabyamizannyo, tebakyawulira kiwunya, mwetaagamu apapya bakiwulire era bakisalire amagezi.

Abakulembenze b’ebyemizannyo okwerowoozaako bokka ne beerabira abazannyi abakoledde eggwanga ebirungi, nsobi nnene esaana okutereezebwa. Dorcus Inzikuru, Godfrey Nyakana, Justin Juuko bandibaddewo ku mukolo nga Pulezidenti Museveni akulisaayo ttiimu bannaabwe ne baddamu amaanyi. kateregaya@yahoo.com 0705669837

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...