TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Bannayuganda engabo bagirumizza mannyo mu Badminton w'abaliko obulemu

Bannayuganda engabo bagirumizza mannyo mu Badminton w'abaliko obulemu

Added 27th April 2018

Abazannyi ba Uganda mu Para Badminton (ow’abaliko obulemu ku mibiri) engabo bagirumizza mannyo mu mpaka za Uganda Para Badminton International ez’omulundi ogwokubiri eziyindira e Lugogo.

Abazannyi ba Uganda mu Para Badminton (ow’abaliko obulemu ku mibiri) engabo bagirumizza mannyo mu mpaka za Uganda Para Badminton International ez’omulundi ogwokubiri eziyindira e Lugogo. 

Hadija Hamuka ne Elizabeth Mwesigwa beesozze enzannya za semifinal mu mpaka ezeetabiddwamu abaznnyo okuva mu mawanga 14. 

Mu basajja, Julius Masereka ne Charles Kizza nabo batuuse ku luzannya lwa semifinal mu nzannya za sekinoomu. 

Mu batambulira ku bugaali Omufaransa Richard Perot akyeriisa nkuuli nga yakubye Atef Mohamoud owa Misiri ku bugoba 2-0.  Mu mpaka zino abazannyi basengekebwa okusinziira ku bulemu obuli ku buli omu nga ziggwa ku Ssande. 

Empaka zino zeetabiddwamu abaznnyi okuva mu mawanga ga Africa okuli Nigeria, Ghana, Cameroon, Kenya, Misiri ne Uganda.  Abalala bavudde mu Brazil, France, Poland, Israel, India, Malaysia ne Scotland.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...