TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Okuzimba ebisaawe kabonero ka nkulaakulana mu mupiira gwaffe

Okuzimba ebisaawe kabonero ka nkulaakulana mu mupiira gwaffe

Added 29th April 2018

Okuzimba ebisaawe kabonero ka nkulaakulana mu mupiira gwaffe

 AGAFA MU FUFA ne Edward Kalungi

AGAFA MU FUFA ne Edward Kalungi

MU byali mu manifesito ya Ying. Moses Magogo ey’emyaka ena kwaliko; okuzza abawagizi mu bisaawe, okutereeza enzirukanya y’omupiira, okuzimba abasambi okuva ku miti emito, okussaawo enkolagana ennungi ne Gavumenti, n’okwagaza abavujjirizi omupiira gwaffe.

Omwezi oguwedde, FUFA yayita ttiimu z’eggwanga nnya omulundi gumu ne zeetaba mu mipiira egy’enjawulo. Cranes yasamba ebiri egy’omukwano ne Sao Tome ssaako ogwa Malawi. She Kobs (ey’abakyala), yasamba ne Kenya awaka ne ku bugenyi). Ey’abali wansi w’emyaka 20 yasamba n’eya South Sudan sso ng’eya-batasussa myaka 17, yali yeetegereka CECAFA y’a-bato e Burundi.

Ng’o-ggyeeko ebyo, waaliwo n’olukiiko lwa Beach Soccer olwetabwamu amawanga 27 ne ssaabawandiisi wa CAF n’omumyuka we. Omwezi oguwedde, Obwakabaka bwa Buganda bwakwasa Magogo ettaka lya yiika 10 okuzimbako ekisaawe ekinaatuuza abawagizi emitwalo 2 e Lugazi.

Ekkanisa y’e Namirembe, nayo n’ewaayo yiika 5 ku ttaka lyayo eriri mu Lubaga ku kisaawe ky’oku kadiba kuzimbibweko ekisaawe ky’okutendekebwa nga kiriko n’ebisulo, jjiimu, ekidiba ekiwugirwamu n’ebirala.

Pulogulaamu eno yaggyibwako akawuuwo ku Lwokubiri wiiki ewedde. Kyansanyusizza nnyo okulaba ku pulaani ya KCCA ey’okuzimba ekisaawe eky’omulembe ekinaatuuza abantu bonna. Ako kabonero kalungi eri omupiira kuba ensi bw’eba n’ebisaawe ebiwera, wabaawo essuubi ly’okutegeka empaka z’Afrika ez’enjawulo n’okwongera okufuna ttalanta.

Mu ngeri y’emu, ttiimu endala nga Villa, Express, URA nazo zandifuna ekinyegenyege okuzimba ebisaawe eby’obwannannyini. Magogo yayongedde ku byafaayo bye bwe yawandiise oluyimba lwa FUFA olutongole ‘FUFA Anthem’ olwatongozebwa ku Lwokubiri ku wooteeri ya Serena ne luyimbibwa Irene Ntale.

Oluyimba luno lunaayimbibwanga wonna ewali emikolo gya FUFA ne ku bisaawe nga ttiimu z’eggwanga zigenda okuzannya. Mu kaco kano omupiira gukulira ku sipiidi ya waggulu ekizzaamu amaanyi nti FUFA gy’etutwala turengerayo.

Nsuubira mu myaka 5, bingi bijja kuba bikyuse nnyo. Mu ngeri y’emu, ekibiina ky’abasambi ekya Uganda Footballers’ Association kiyita abaagala okusoma ogw’obutendesi ogwa FUFA Level One Coaching Course ogunaabeera e Mengo ku FUFA House era okwewandiisa okuba ku ssimu zino; 0779085702 ne 0705781090. Eddiek05@yahoo.com 0705781090/ 0779085702

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...