TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Vvaawompitewo mu liigi: Express y'esalawo agiwangula ku Vipers, Villa ne KCCA FC

Vvaawompitewo mu liigi: Express y'esalawo agiwangula ku Vipers, Villa ne KCCA FC

Added 30th April 2018

SIZONI bbiri eziyise, liigi y’omupiira eya babinywera (Azam Uganda Premier League) we yabeerera nga buli ttiimu ebuzaayo emipiira 5, ttiimu eneewangula ekikopo n’ezidda mu Big League zaali zitandise okutegeerekeka.

 Abazannyi ba Vipers nga bajaganyiza ggoolo ku KCCA. Baawangudde 3-

Abazannyi ba Vipers nga bajaganyiza ggoolo ku KCCA. Baawangudde 3-

Kirinya Jinja 1-2 Bright Stars

Maroons 1-1 Express

Mbarara City 1-1 SC Villa

Sizoni eno, ttiimu ssatu (Vipers, SC Villa, ne KCCA) zikyalina omukisa ogugiwangula sso nga n’ezisalwako essatu tezinnamanyika.

Singa bigenda bwe biti, omuwanguzi n'ezinadda wansi bandisalwawo mipiira egisembayo.

BONNA BABUZAAYO EXPRESS

Ttiimu zonsatule ezirwanira ekikopo (Vipers, Villa ne KCCA) zirina okuzannya Express kyokka nga nayo obubonero bwa zonsatule ebwetaaga ewone ekyambe.

Ku zonsatule, Vipers y'eri yaddeyaddeko kuba y'ekyaza Express sso nga Villa ne KCCA ze zigirumba e Wankulukuku. Vipers erina obubonero 52, Villa 50 ate KCCA 48.

VIPERS ERINA ENKIZO

Mu mipiira etaano Vipers gy'ebuzaayo, esatu giri waayo e Kitende nga muno mulimu Police, Express ne UPDF.

Erina okukyalira Kirinya Jinja SS, etekyalina ky'egoba wamu ne Proline erwanyisa ekyambe.

Ng’oggyeeko Express ekyetwala nga ennene, UPDF ne Proline wadde zirwanyisa kyambe tezitiisa.

VILLA EKOLA BUBI KU EXPRESS

Villa mu kyokubiri, essaala zaayo ziri ku kuwangula mipiira gyayo gyonna nga bw'esabirira Vipers ekubweyo omupiira.

E Masaka, Villa ekolerayo bulungi era nga Kirinya ne BIDCO esuubirwa okubakubirayo.

Okutya kw'abawagizi baayo kusinga kubeera ku UPDF e Bombo, Proline e Lugogo ne Express e Wankulukuku, zonsatule ezirwisa ekyambe.

Ogwa Express muzibu nnyo kuba zeerinako akakuku ate guli Wankulukuku nga Express teyagala kuwa muggya waayo kikopo.

Ekirala, Villa ekola bubi ng'erumbye Express 'mu Mayuuni' nga n'omwaka oguwedde yakyala enoonya buwanguzi kyokka baagikubirayo KCCA n'egitwalako ekikopo.

Villa nayo erwana kuzza Express mu kyalo

KCCA EKOLA BUBI KU BUGENYI

KCCA eyookusatu, okweddiza ekikpo yeetaaga Vipers ekubweyo omupiira n'amaliri olwo yo ewangule etaano gy'esigazza.

Ekibi, KCCA ekola bubi ku bugenyi nga Bright Stars, Express ne Police z'erina okukyalira.

Ku z'ekyaza, Proline bakozesa ekisaawe kimu eky'e Lugogo era nga mu gwasooka KCCA yawangulwa.

Omulala gw'ekyaza ye BIDCO, erwanyisa ekyambe. Ogwa Bright Stars e Matugga muzibu nnyo, e Namboole ekyalira Police gy'etekolera bulungi ssaako okugenda e Wankulukuku ku Express, erwanyisa ekyambe.

OLUTALO LW'EKYAMBE

Okuva ku Police, eri mu kyomunaana okudda wansi, zonna zikyasobola okusalwako.

Proline eddiridde asembye eri ku bubonero 26 nga singa ewangula emipiira ebiri esibira mu kyamunaana.

URA eri ku bubonero 31, BIDCO 30, UPDF ne Soana 28 Mbarara City 27 ne Express 26.

EXPRESS ERI KU SSAALA

'Mukwanogwabangi' Express eri bubi ddala. Ttiimu 5 z'esigazza, kuliko, KCCA, Villa ne Vipers ezirwanira ekikopo ssaako Masavu ne URA.

Mu gino, Express yeetaaga okuwangulako 3.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...