TOP

Ttiimu za University League zitolotooma

Added 1st May 2018

NGA liigi ya yunivasite yakawummula ekitundu kya sizoni ekisooka, ttiimu ezeetabyemu ziyomba olw’engeri etteeka erikugira abawezezza emyaka 25 okuzannya mu liigi eno gye libakosezzaamu.

 Abazannyi ba Nkuba nga bawaga

Abazannyi ba Nkuba nga bawaga

Bya GERALD KIKULWE 

NGA  liigi ya yunivasite yakawummula ekitundu kya sizoni ekisooka, ttiimu ezeetabyemu ziyomba olw’engeri etteeka erikugira abawezezza emyaka 25 okuzannya mu liigi eno gye libakosezzaamu.

Bwe yali ebula wiiki bbiri sizoni ya 2018 Pepsi University League okuggyibwako akawuuwo,akakiiko akaddukanya empaka zino k’avaayo n’etteeka erigaana buli muyizi  wa Yunivasite eyazaalibwa oluvannyuma lwa January 1, 1993 okuzannya mu mpaka zino.

Kino  kyaleetawo okutaataganya mu bazannyi ttiimu be zaali zimaze okukolera Layisensi n’okuwandiisa ng’abagenda okuyamba ttiimu zaabwe okukola obulungi sizoni eno olwo ne bamaliriza nga bazze mu kulonderera abo be baali basudde ebbali olw’obutabeera na bumanyirivu.

Joseph Muyiira Maneja wa Nkumba Univasite agamba nti ttiimu enene mu Liigi eno zonna zikoze bubi ekitundu ekisooka olw’abasambi be baasalako ku ssaawa esembayo.

“Ssi simbira kkuuli  tteeka lino naye baalireeta kikeerezi nga tumaze okulonda abazannyi be tugenda okukozesa, kino kiraga obunafu mu nzirukanya Liigi,bandibadde batutegeeza ku nkomerero ya sizoni ewedde,” Muyiira bwe yeemulugunyizza.

Muyiira agattako nti abazannyi be baafirwa okuli Ronald Obere, Edmond Wambokka, Isaac Otto, Henry Kawuma, Joseph Yiga n’abalala, baakuba eddibu ddene mu ttiimu ky’asuubira nti kyakosa ne Yunivasite endala.

Anthony Tumwesigye Maneja wa Liigi ya Yunivasite agamba nti etteeka lino teryaggya kikeerezi,Yunivasite liigi etambulira ku mutindo gw’e nsi yonna,ttiimu zeekwasa bwekwasa  kuba kino kyakolebwa okuwa omukisa ebitone ebito okusinga abakadde okwefuga Liigi.

Liigi yawummudde okutuusa mu August wabula yunivasite nga Nkumba,MUBS, K.U, KIU ne Gulu ezirudde mu liigi eno zonna zikoze bubi ekitundu ekisoose.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.

Wabulya (owookubiri ku ddyo) eyafiiriddwa mutabani we.

Engeri mutabani w'omukungu ...

MUTABANI w’omukungu wa bbanka ya Uganda afiiridde mu ggwanga lya Hungary gy’abadde asoma obusawo. Eyafudde ye...

Augustine Yiga lwe yali mu kkomera e Kitalya ku misango gy'okuwakanya nti obulwadde bwa Corona Virus tebuliiyo

Paasita Yiga Mbizzaayo assi...

Paasita Augustine Yiga Mbizzaayo ow'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala asizza ku byuma!

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...