TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'Emmamba Kakoboza bawera kusitukira mu ngabo y'Ebika

Ab'Emmamba Kakoboza bawera kusitukira mu ngabo y'Ebika

Added 6th May 2018

BAZZUKULU ba Nankere aba Mmamba Kakoboza katono baffe essanyu oluvannyuma lwokufuna omujoozi omupya nga baakamala okutongoza olukiiko lwa ttiimu yaabwe olupya.

 Abakungu b'olukiiko oluddukanya ttiimu ye Mmamba Kakoboza abakulembeddwa Davies Katabira ( asembye ku ddyo) nga balaga emijoozi egyabaweeredwa nnannyniyi "Hardware" ya Kijjambu and sons ku Lwomukaga akawungeezi.

Abakungu b'olukiiko oluddukanya ttiimu ye Mmamba Kakoboza abakulembeddwa Davies Katabira ( asembye ku ddyo) nga balaga emijoozi egyabaweeredwa nnannyniyi "Hardware" ya Kijjambu and sons ku Lwomukaga akawungeezi.

Omujoozi guno gwabaweereddwa muzukkulu waabwe Paul Maloba, nnannyini maduuka ga “Kijjambu and Sons General Hardware”  e Matugga ku Lwomukaaga emisana e Lugala ku mbuga ya Jjajjaabwe Moses Kanoonya  nga beetegekera omupiira gwabwe oguggulawo n’Abalangira nga 13 June e Wankulukuku.

“Tuli basanyufu  olw’okufuna omuvujjirizi nga ttiimu kubanga kino kye kimu ku bintu ebibadde bisoomooza ttiimu z’Ebika ezisinga,” Davies Katabira akulira eby’emizannyo mu ttiimu eno bwe yategeezezaz.

Yaweze nga Kakoboza bw'egenda okulwana sizoni eno okulaba nga basitukira mu Ngabo y’omwaka guno okusobola okuwa abawagizi n’abavujjirizi essanyu.

Olukiiko olupya lukulemberwa Davies Katabira (omu ku bakulira obukiiko bwa baddifiri mu FUFA) ne Twaibu Sserukenya, maneja wa ttiimu ya Kakoboza.

Empaka z’Ebika by’omwaka guno ziggulwawo ku Ssande ejja nga 12/05/2018 ku kisaawe kya St. Mary’s  Kitende era nga  bazzukulu ba Ndugwa e Katende ab’Olugave ne bazzukulu ba Mazige e Muyenje ab’Empindi babulonda.

Okuyingira kwa 5000 ne 10,000 eri abanaatuula mu bifo by’ekikungu.

Zino mpaka za mulundi gwa 45 kasookedde zitandik0bwawo mu 1950 ng’Ebika 45 bye bizeetabyemu omwaka guno ate ebirala 7 ne bitalabikako olw’ensonga z’ebyensimbi n’obunafu mu bukulembeze.   

   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hudu ng'ayogera ku by'Emyooga ku Media Centre.

Gavumenti eyungudde bambega...

RCC wa Kampala, Hudu Hussein asekeredde abeesomye okubba n'okubulankanya ssente ez'emyooga nti bubakeeredde. Gavumenti...

Nubian Li (alina masiki emmyuufu), Eddy Mutwe (emabega we) ne bannaabwe mu kaguli ka kkooti y’amagye e Makindye..

Aba People Power bapondoose...

ABAWAGIZI ba People power 35 okuli omuyimbi Nubian Lee ne Eddy Mutwe bapondoose ne baddamu okwegayirira  kkooti...

Omutuuze ng'alaga ennyumba ya Kasumba mwe yagyiridde.

Eyagyiridde mu nju asattizz...

Entiisa ebuutikidde abatuuze b'oku kyalo Katanjovu mu ggombolola y'e Kapeke mu disitulikiti y'e Kiboga bwe basanze...

Male eyasibiddwa ng'ali mu kaguli.

Ddereeva asibiddwa lwa nkof...

DDEREEVA wa takisi avunaaniddwa olw'okwambala enkofiira emmyufu emanyiddwa nga ey'amagye ga UPDF. Isma Male...

Abasajja bano abeefuula ab'ekitongle ky'amazzi ne babba Abachina.

Abeefuula abakozi mu kitong...

Poliisi ng'eyita mu bitongole byayo okuli ekikessi, ekinoonyereza ku misango n'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya...