TOP

Villa eyagala kuzza Express mu 'lejula'

Added 11th May 2018

OMUPIIRA mulindwa wakati wa Express FC ne SC Villa gwa leero (Lwakutaano) e Wankulukuku wakati mu bunkenke eri abawagizi ba ttiimu zombi.

 Ronnie Kisekka owa Express FC (ku kkono) ng'attunka ne Allan Kyambadde owa SC Villa mu gw'oluzannya olusooka e Masaka. Villa yawangula ggoolo 1-0.

Ronnie Kisekka owa Express FC (ku kkono) ng'attunka ne Allan Kyambadde owa SC Villa mu gw'oluzannya olusooka e Masaka. Villa yawangula ggoolo 1-0.

Leero (Lwakutaano), 10:00;

Express - SC Villa, Wankulukuku

Bidco - Bright Stars,

Kakindu UPDF- Soana FC,

Bombo Maroons - Police,

Omupiira guno ogwa liigi ya babinywera, gutuuse Villa erwanira kikopo ate Express eri ku butaka erwanyisa kusalwako.

Villa eri mu kyakusatu n’obubonero 53 ng’omupiira guno gw’etunuulidde okugizza mu kibalo ky’ekikopo sso nga Express erwanyisa kyambe era bw'ekubwa esigala mu ttiimu essatu ez'okusalwako.

Villa ebala nti bw'eguwangula, kijja kutwala Express ewa Vipers nga nkambwe erwane okufuna obubonero obusatu obugiwonya okusalwako, olwo yo (Villa) esibagane ne Vipers ku bubonero 58, kisigalire ku buli omu gw'asembyayo.

Ekigwongera ebbugumu, be batendesi Wasswa Bbosa (Villa) ne Shafiq Bisaso owa Express.

Wasswa yagobwa mu Express ate Bisaso n'afuumuulwa mu Villa sizoni ewedde nga buli omu ayagala kulaga baali bakama be nti y'asingako.

Ng’oggyeeko abatendesi, abawagizi ba Express balina akakuku ku Villa olw'okubatwalako obubonero mukaaga nga tebatuuyanye mu sizoni ya 2014/2015, FUFA bwe yabasingisa omusango gw'okukolera effujjo ku mipiira egyali e Mityana n'e Wankulukuku.

Gyombi gyaggweera mu ttiyagaasi nga gyalamulwa Ronnie Kalema ne Rajab Bakasembe.

EMPALANA Y'ABAZANNYI

Musa Mukasa, Simon Sserunkuuma, Allan Kyambadde, Muhad ‘Yaya’ Kakooza, Godfrey Lwesibawa ne Henry Katongole, baaliko mu Express sso nga Ayub Kisaaliita owa Express yaliko kapiteeni wa Villa n'emusalako.

Omutindo gwa ttiimu zombi si mulungi ng'emipiira gyabwe ena Abawagizi kye bagwogerako Ronald Kalungi e Kitintale; Express erwanyisa kyambe ejja kuwangula Villa 2-1.

Ekirala guli wa Express e Wankulukuku.

Cathy Ahebwa e Nabulagala; Nsuubira Villa okuwangula kuba ya maanyi. Erina abazannyi abalungi okusinga ku ba Express. egisembyeyo, Villa ewanguddeko Kirinya yokka (2-0) ate Express ekubye UPDF (2-0).

Wasswa Bbosa yategeezezza nti balina obusobozi obuwangula omupiira. “Express erina ebyafaayo ebirungi e Wankulukuku kyokka buli kimu kibaako n’enkomerero.

Tugyagalako obubonero busatu tulinde ekiddako,” Bbosa bwe yategeezezza.

Emipiira etaano Express gy'esembyeyo okuzannyira e Wankulukuku, ekubiddwa KCCA yokka (2-1) sso nga Villa yasemba okuwangulirayo mu January wa 2011 ne ggoolo 1-0. Villa erimu okwerumaaluma wakati wa Wasswa Bbosa n'omumyuka we, Paul Mukatabala abeerangira enkwe. Kino kyavuddeko abakungu baayo okuyimiriza Mukatabala. Bbosa naye ali ku kkoligo lya mipiira ena era Phillip Ssozi ne Mubaraka Kiberu be bagenda okutuula ku katebe. Bisaso yagambye nti omupiira guno mukulu nnyo eri ebiseera bya ttiimu eby'omu maaso nga tujja kulwana nnyo tuguwangule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...