
Omutendesi wa Cranes, Sebastien Dessabre afulumizza olukalall lw'abazannyi b'atwala mu nkambi e Niger ttiimu gy'egenda okuzannyira emipiira ebiri egy'okwegezaamu. (STEPHEN MAYAMBA)
Enkya ya leero (Lwakusatu) Desabre afulumizza olukalala lw’abazannyi 23 nga kuliko Bapulofeesono 17 n’abaguzannyira awaka 6 b'agenda okukozesa mu mipiira egisooka ebiri ne Niger wamu ne Central African Republic wakati wa May 27 ne June nga 3.
Uganda erina emipiira ena wakati wa September ne November mu z’okusunsulamu za AFCON 2019 mw'egenda okukyaliza Tanzania ne Lesotho egy’omuddiringanwa ezzeeko okukyalira Lesotho nga tennakyaza Cape Verde.
Ogwali ogw’okukyalira Tanzania mu March ne guggyibwayo tegunnafunirwa lunaku.
Ttiimu eyayitiddwa mu bujjuvu; Denis Onyango, Charles Lukwago, Jamal Salim, Denis Iguma, Nicholas Wadada, Murushid Jjuko, Bevis Mugabi, Timothy Awanyi, Geofrey Walusimbi, Isaac Muleme, Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Khalid Aucho, Taddeo Lwanga, Luwagga Kizito, Milton Karisa, Allan Kateregga, Faruku Miya, Moses Opondo, Emmanuel Okwi, Yunus Sentamu, Edrisa Lubega ne Mohammad Shaban.