TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ab'e Wakiso beebugira mipiira gy'amagombolola

Ab'e Wakiso beebugira mipiira gy'amagombolola

Added 20th May 2018

DISITULIKITI y’e Wakiso etegese empaka z’omupiira n’okubaka ebigenda okuwakanirwa amagombola ne Divizoni ez’enjawulo.

 Abakungu b'e Wakiso mu kutongoza empaka. Wakati (akutte ekikopo ye Lwanga Bwanika.

Abakungu b'e Wakiso mu kutongoza empaka. Wakati (akutte ekikopo ye Lwanga Bwanika.

Empaka zino ez’okuzannyibwa wakati wa May 23-26, zaatongozeddwa ssentebe wa disitulikiti, Matia Lwanga Bwanika ku kitebe kya disitulikiti nga gwetabiddwako bakkansala, bassentebe b’amagombolola ne Divizoni n’abakulira ebibiina by’abasomesa b'amasomero ga pulayimale ne siniya.

Eggombolola y’e Gombe y’egenda okuggulawo ne Masajja ku kisaawe e Mwereerwe nga May 23 ate mu kubaka Gombe ettunke ne Ndejje.

Okusinziira ku ssentebe w’olukiiko olutegesi nga ye ssentebe w’eggombolala y’e Ndejje, Sulaimani Ssjjengo mu kiseera kino amagombola 19 ge gakeewandiisa nga gaawuddwamu ebibinja bina.

Ebibinja nga bwe biri;

Ekibinja A; Ndejje (bakyampiyoni b’omwaka oguyise), Ntebe Divizoni A, Kakiri TC, Masuliita ne Bunnamwaya.

Ekibinja B; Gombe, Masajja, Nabweru,Wakiso TC.

Ekibinja C; Mende, Namugongo, Kyengera TC, Namayumba ne Wakiso.

EkibinjaD; Katabi TC, Bweyogerere, Kajjansi TC, Kakiri ne Masuuliita TC.

Omuwanguzi waakufuna ekikopo n'ebirabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....