TOP

Proline esannyalazza emikisa gya Villa okuwangula liigi

Added 21st May 2018

Abawagizi ba SC Villa bavudde e Lugogo nga bamatidde nga bwe bavudde ku kikopo ne bwe wanaabaawo ebibalo byonna mu kwongera okufuna obubonero bwa liigi nga ttiimu endala zizannye oluvanyuma lw’okulemegana ne Proline FC gye bakyalidde nga tewali ateebye munne.

 Arthur Kiggundu owa SC Villa ng'ataasa  omupiira ne ku bateebi ba  Proline mu luzannya lwa liigii e Lugogo May 21 2018.Balemaganye 0-0 May 21 2018. (ekif:silvano Kibuuka)

Arthur Kiggundu owa SC Villa ng'ataasa omupiira ne ku bateebi ba Proline mu luzannya lwa liigii e Lugogo May 21 2018.Balemaganye 0-0 May 21 2018. (ekif:silvano Kibuuka)

Liigi ya Azam:

Proline FC 0 – 0 SC Villa

Okulemagana kulese SC Villa mu kyokusatu ku mipiira 29 so nga Proline ekyali mu kya 15 n’obubonero 28 mu mupiira 29 era ng’eyolekedde okusalwako.

Omutendesi wa Proline, Mujib Kasule ategeezezza nti abadde n’abasambi mukaaga Abasiraamu abaalemedde ku ky’okusiiba ne kikaluubiriza ttiimu okuwangula kubanga bazannye tebalina maanyi gamala.

“Kino kiwalirizza abasambi abalala obutakola bulingi kubanga bannabwe babadde njala nga tebalina maanyi. Singa banaagaana okulya ku mupiira oguddako nga tusamba URA era e Lugogo tetujja kubawa mupiira ogwo,” Mujib bw’ategeezezza.

Abawagizi balabidde awo ng’omukwasi wa ggoolo ya Proline, Said Keny yeesiba ekyenda ddiifiri n’ayimiriza omupiira okukala eddakiika ttaano Proline n’eyingiza omulala Nasser Lwamunda agumazeeko.

Ye omutendesi wa SC Villa Wasswa Bbosa ategeezezza nti liigi agivuddeko nga bati essira alitadde ku mpaka za Uganda Cup mw’asisinkanira Express FC ku Lwomukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono