TOP

KCCA erumbye Onduparaka n'ekiruyi mu liigi y'abato

Added 29th May 2018

KCCA erumbye Onduparaka n'ekiruyi mu liigi y'abato

Bya Joseph Zziwa

Onduparaka FC- KCCA FC

Mbarara City-SC Villa Jogoo

Vipers SC- Express

Police-Kirinnya Jinja SS

Proline-Soana

OLWALEERO ekibanyi kyakugwa n’amenvu ttiimu ya KCCA ey’abali wansi w’emyaka 18 bwenaaba ekyalidde Onduparaka FC ku kisaawe kya Green Light mu Arua gyebatanawangulirwako sizoni eno mu liigi ya Fufa Junior League.

Nga oggyeeko ekiruyi KCCA kyerina ku Onduparaka bweyagirumba e Lugogo mu luzannya olwasooka n’egikuba 3-0,yetaaga buwanguzi esobola okuggya Onduparaka ku ntikko y’ekibinja Treble ky’ekulembedde n’obubonero 54 nga esinza KCCA akabonero kamu kyokka ebula emipiira ebiri liigi eggwe.

KCCA Yesize muyizzi tasubwa waayo Sadat Anaku nga yakulembedde abateebi ne goolo 26 ate Onduparaka yesize Iddi Abdul Wahid alina goolo 14.

Yo Vipers ekulembedde ekibinja kya Treble n’obbonero 51 erabika nga etali ku puleesa yamaanyi olw’okuba esinza Masavu ey’okubiri obubonero 4 ate nga erina n’eggolu lya Express erabika nti njabayaba.

Ttiimu ezinakulembera ebibinja zeziggya okuzannya ez’akamalirizo era guno gwemulundi KCCA mwerina okweggyirako ekikwa ky’obutawangula kikopo oluvannyuma lw’okutuuka ku Fayinolo emirundi ebiri nga bagikubira mu peneti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...