TOP

City Oilers yeswanta kumegga KIU

Added 29th May 2018

City Oilers yeswanta kumegga KIU

Bya Gerald Kikulwe

Egyazannyiddwa mu Basketball


City Oilers 66-48 Charging Rhino

KIU Rangers 63-62 Magic Stormers


KCCA Impalas 60-89 Betway Power


KCCA Leopards 58-55 A1 Challenge


UPDF Tomahawks 57-100 KIU Titans


Pemba Warriors 51-58 City Oilers

BANANTAMEGGWA ba liigi ya Basketball aba City Oilers beeswanta kudda mu biwundu bya KIU Titans gye baakubira ku Fayinolo ya sizoni ewedde ne basitukira mu kikopo.

Sizoni ewedde City Oilers yawangula KIU Taitans enzannya 4 kw’ezo 7 ze baazannya ku fayinolo,ku lwokutaano luno baddamu okwesanga omulundi ogusoose sizoni eno ku kisaawe kya YMCA e Wandegeya wabula nga buli omu awera butalekera munne.

 

City Oilers ku wiikendi yasobodde okuwangula ttiimu bbiri ze yazannye okuli Charging Rhino gye yakubye obugoba 66-48 ne Pemba Worriors ku bugoba 58-51 ate ne KIU  yayisizza bubi UPDF Tomahawks ku bugoba 100-57 ne bateekawo likodi ya ttiimu esoose okufuna obubonero 100 sizoni eno.

Mandy Juruni omutendesi wa City Oilers agamba nti ekya KIU okukuba UPDF obugoba 100 kyasinzidde ku ttiimu gye baazikubye naye bbo kye batunuulidde kwe kufuna obuwanguzi mu buli ngeri yonna esoboka.

“Tetufuddeeyo ku bubonero bwe baafunye ku wiikendi,ffe tujja na kigambo kimu kufuna buwanguzi era nga nkakasa tugenda kubufuna awatali kulafuubana,” Juruni bwe yakakasizza.

Bombi baakazannya ttiimu ttaano sizoni eno nga KIU zonna eziwangudde ate City Oilers yaakawangula 4 oluvannyuma lw’okukubwa Betway Powers ku bugoba 64-56 mu gwaggulawo sizoni.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...