
Zebra ku kkono ng'ali mu nsiike
BYA GODFREY KIRAGGA
Zebra 'Mando' Ssenyange munnabyamizanyo, omukubi w'ebikonde ebyensimbi nga asinga kumanyibwa nga The Zebra.
Mutendesi ate nga muzannyi wa bikonde. Azannye ebikonde obulamu bwe bwonna nga yasookera ku nsambagere n'adda mu bikonde.
Abaddeko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga 'The Bombers' emirundi ebiri, era awangulidde Uganda emidaali egiwerako omuli egya feeza ebiri gye yawangula mu Misiri mu mwaka gwa 2008, n'emidaali emirala gy'awangudde ku mpaka ezenjawulo z'azze yeetabamu.
“Ekisisnga okunnuma n'okwejjusa kwe kuba nti nnalemererwa okugenda okuzannya mu mpaka za OLYMPICS GAMES ne ttiimu y'eggwanga 'The Bombers' olw'obukuusa n'obutali bwenkanya obuli mu 'Amateur boxing' naddala mu bukulembeze,” Ssennyange bwe yategeezezza.
Omusasi waffe Kiragga yamutuukiridde n'amusoya kajjogijjogi w'ebibuuzo mu kanyomero kaffe aka 'Kituffu si Kituffu?’
Oli mufumbo oba okyanoonya?
Ndi musajja mufumbo era mukazi wange nnamufuna ndi muto nnyo mu myaka gyange egy'ekivubuka kuba twasoma ffenna ne mukazi wange Mercy Mukankusi era n'ekiseera bwe nnagendera e Bungerza nnali mufumbo ng'eyo nnamalayo emyaka etaano ne nzira ne mmusanga.
Ebikonde obizannyidde bbanga ki?
Amazima siyinza kukulimba bbanga ki lye mbizannyidde, kuba nzijukira nti okuva nga nnina emyaka kumi n'esatu mbadde ku mizannyo okuviira ddala ku gw'ensambaggere ne nzira mu bikonde ebinfudde kyendi leero.
Wali ozannyeddeko mu Olympics Games?
Mwattu saafuna mukisa ogwo, n'okutuusa essaawa ya leero nkyevuma abasajja Abawarabu abannemesa bwennakuba omusajja wa Zambia ne mmukutula olubiriizi kyokka ne bannemesa okuzannya oluzannya oluddako olwali luntwala mu Olympics Games.
Mpulira bagamba omuntu wamukuba bubi nnyo era kye kyakulemesa okweyongerayo ku mutendera oguddako
Hahahaha, ekyo si kituufu. Ekituufu kiri nti mu mwaka gwa 2006 nga nzizze ku tiimu y'eggwanga twali mu mpaka za All African games mu Bawarabu, nnakuba omusajja wa Zambia gwe bayita Amoso ne mmukutula olubiriizi.
Abarabu basajja bakuusa nnyo! G'ame' yange baagigaba ne bagiwa omuntu omulala mu ngeri y'amancoolo ne bannemesa okwesogga oluzannya oluddako.
Wazannyako ebikonde by'ensimbi?
Namala emyaka ebiri nga nzannyira ttiimu y'eggwanga, Abangereza ne bandaba bw'entyo ttiimu eyitibwa 'The Alington' mu South London e Bungereza n'engula ne ngizannyira okumala emyaka etaano bwe ddu!
Baali bakuggunzeeko mu muzannyo guno ogw'ebikonde?
Eky'amazima mu bya pulofeesono sikubwangamu. Mu nzannya 10 ze nnina mpanguddeko 8 ate 2 ziggweera mu maliri. Mu wiini omunaana nninako KO's (soma tonziriranga) 5 n'eya Jo Vegas Lubega, abadde nnantameggwa mu WBC.
Mu bikonde bya 'Amateur' nninamu enzannyaezisoba mu 300 naye nga nkubiddwaamu enzannya nga 10 zokka.
Olinayo abakubi b'ebikondde abamaanyi mu gwanga b'okuteko ku mukono?
Bawerako nga bano kuliko; Sharif Bogere. Ono nze nnasooka okumuzanyisa ebikonde by'amasomero, era mwenyumirizaamu nga kati zannyira mu ttiimu ya May Weather mu America. Abalala kuliko; Adaman Daku, kati ali mu gwanga lya Holland ne Faroak Daku.
Abazannyi bangi nnyobenkutte ku mikono, abalala bali mu jjiimu nkyababangula.