TOP

Misagga by'akola bitwala Villa mu kkubo lya Express

Added 7th June 2018

PULEZIDENTI wa SC Villa, Ben Misagga asaanye aleme kukola bintu ebyaleetera Express FC ‘okukonziba’ n'etuuka ‘okusimbayo ekitooke’ mu liigi eyaakaggwa sso nga yasuzanga abawagizi nga bakukunadde!

Pulezidenti wa SC Villa, Ying Ben Misagga

Pulezidenti wa SC Villa, Ying Ben Misagga

Misagga okuvaayo n’agamba nti SC Villa yiye era agirinamu emigabo 100 ku 100 eba nsobi nnene kuba ekisooka, si ye yagitandikawo ku nsimbi ze, langi z'akozesa nnannyini kugitandika Chief Patrick Kawooya n’eyamusikira Franco Mugabe be baazironda, ekitegeeza, kiraabu ya bawagizi.

Ng’oggyeeko ebyo, Villa gy’agamba nti yiye, mu 2005 lwaki baamulemesa okufuuka pulezidenti waayo oluvannyuma lw’abakungu baayo ab'oku ntikko okumusimbira ekkuuli nti yali akyabulamu kuba abawagizi baali baakamulonda okukulira abawagizi?

Bw’aba nga ddala Misagga ayagala kiraabu eyiye ku bubwe, yandikoze nga Lawrence Mulindwa bwe yakola bwe yakyusa Bunnamwaya n'agifuula Vipers.

Mu kino, Mulindwa yayagala okwezza kiraabu eyali ey’abangi efuuke yiye era talondebwa nga bwe gwalinga mu Bunnamwaya.

Mu 2014, Misagga yakyusa SC Villa Limited, eyali ekulemberwa Fred Muwema n'agifuula Villa Jogoo Uganda ekintu ekiraga obulyake kuba ne Muwema okugifuula Limited ky'ava mu FUFA ng’eyagala kiraabu zifuuke kkampuni era ne Express nayo n'efuuka kkampuni.

Bw’aba Misagga akoppa Mulindwa, eyo nsobi kuba Vipers si ya bawagizi, tebagirondera bakulembeze wabula Mulindwa y’alonda abakungu baayo n’abakozi naye mu Villa si bwe kiri, Misagga, abawagizi abatalina migabo ate be yasaba akalulu era ne bamulonda.

Oba nga Misagga owa 2005 agamba alina emigabo 100 mu kiraabu ate olwo abaagituusa okuwangula ebikopo 16 ebya liigi, abaasenda ekisaawe kya Villa Park mu gy'e 70 w'etendekerwa, abawagizi abazze bagiwagira mu bubi ne mu bulungi bo balina emeka?

Misagga njagala okumuwa ekyokulabirako ekya New Vision eyatandikibwawo mu 1986 nti ezze ekyusa abakulembeze n’okutondawo ebitongole eby'enjawulo omuli ne Bukedde olupapula olwatandikibwawo mu 1994 naye tewali yali avuddeyo kugamba nti alina emigabo 100 wadde ne Gavumenti.

Misagga asaanye akimanye nti omuntu okukyusa erinnya tekikyusa bintu bimuli mu mutwe, abaana basigala nga babe n’ebirala, noolwekyo, okukyusa SC Villa Limited n’ogifuula Villa Jogoo Uganda, tekigifuula yiye era bw'alifa mutabani we y'aligitwala.

Bino byonna okuvaayo kivudde ku looya Edgar Agaba okuvaayo n’agamba nti agenda kuvuganya Misagga mu kulonda okubindabinda kuba alaba kiraabu evunze.

Wadde Misagga alemeddwa ebikopo bya liigi n’okweronderanga abakulira abawagizi, kiraabu tennavunda nga Agaba bw’agamba kuba singa evunze kiki ekyandimuwalirizza okujja okuvuganya?

Nzikaanya ne Agaba ku nsobi za Misagga omuli n’obutategeka ttabamiruka, okulemesa abawagizi okwerondera abakulembeze baabwe n'ebirala naye asaanye amwebazeemu ak'ensusso.

Ebizibu ebiri mu Villa mu kiseera kino bye bituusizza Express okufuuka ekisekererwa era ng’ayagaliza kiraabu z’abawagizi okuwangaala sigenda kuwagira kandideeti yenna mu Villa alowooza nti kiraabu yiye ng’omuntu, atakkirizza bawagizi okwerondera n’okusenza banne ng’oluti.

Misagga asaanye akkirize nti kiraabu emuzitooweredde kuba agiriko bwannamunnigina mpozzi n’abawagizi ababadde bayingira ebisaawe era obunafu bwa Misagga bwe bugenda okufuula Vipers ‘Ssaalongo’.

Abawagizi ba Villa bwe baba baagala kiraabu yaabwe edde ku mutindo basaanye bakkirizise Misagga ayite Fred Muwema, Agaba, Mohammad Bazirengedde, Rogers Byamukama ne Mbidde bakkaanye ku bifo, bonna bakolere wamu kuba kiraabu yaabwe bonna.

kateregaya@yahoo.com 0705669837

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...