TOP

Azam ekansizza Nicholas Wadada

Added 18th June 2018

ABADDE kapiteeni wa Vipers, Nicolas Wadada, yeegasse ku Azam FC ey'omu liigi y'e Tanzania, n'agamba nti egenda kumwongera ku mutindo.

 Wadada

Wadada

Wadada eyeegatta ku Vipers mu sizoni ya 2012/2013, endagaano ye yabadde eweddeko era yagendedde ku bwereere.

" Ng'oggyeeko ekya ssente, liigi y'e Tanzania egenda kumpa okuvuganya okumala kuba mu eya Uganda mbadde ngiruddemu nnyo nga sikyalaba kipya,"

Wadada eyaweereddwa endagaano ey'omwaka ogumu, omupiira yagutandikira ku St Mary’s Kitende gye yava okwegatta ku Bunnnamwaya kati Vipers, n’afuuka kapiteeni.

Agiwangulidde ebikopo bya liigi bibiri (2) ekya sizoni ya 2014/2015 ne 2017/2018, ekya Uganda Cup ne Super Cup mu 2016.

Mu ngeri y’emu, omuzibizi Ibrahim Kiyemba yeegasse ku Vipers okuziba eddibu lya Wadada.

Kiyemba oluzannya olusooka olwa sizoni ewedde yabadde mu Villa, ate olwokubiri n’alumala nga talina ttiimu oluvanyuma lw’okugenda e South Afrika okugezesebwa mu Stellenbosch FC ey’ekibinja ekyokubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...