TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Wasswa Bbosa olwegasse ku Soana n'alangira aba Villa

Wasswa Bbosa olwegasse ku Soana n'alangira aba Villa

Added 21st June 2018

OMUTENDESI Wasswa Bbosa olwegasse ku Soana n’alangira ababadde bakama be aba SC Villa omuliro nti enkwe ezibajjudde, zaakuzza ttiimu emabega.

 Nnannyini Soana, Smart Obed (ku kkono) ng'ayanjula Wasswa Bbosa.

Nnannyini Soana, Smart Obed (ku kkono) ng'ayanjula Wasswa Bbosa.

Bbosa amaze sizoni emu mu Villa, yagambye nti kooci yenna okugitendeka n’amalako emyezi 5, aba mugumu kuba abawagizi n’abamu ku bakungu baagala otambulire ku biragiro byabwe.

“Abakungu ba Villa beefuula bannannyiniyo era mbadde nkyayagala okugitendeka naye embeera yannemeredde,” Bbosa bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde mu Villa, Bbosa yatabuka n’eyali omumyuka we Paul Mukatabala okukkakkana nga Mukatabala agobeddwa ate endagaano ya Bbosa bw'eweddeko, n'asalawo anoonye ttiimu endala.

AKOZE ENDAGAANO YA MWAKA GUMU

Bbosa yakoze endagaano ya mwaka gumu okutendeka Soana n’aweebwa obuyinza okugula abazannyi n’okugoba abatatuukana na mutindo.

Smart Obed, nnannyini yo yagambye nti bulijjo yeegomba okubaako n’omutendesi alinga Bbosa kuba ky’akola akimanyi ate amanyi okukumaakuma abazannyi ne bafuna obuwanguzi.

YAGAANYI DDIRU YA EXPRESS

Ku Mmande, abakungu ba Express baatudde ne Bbosa ku by’okumuwa omulimu kyokka enteeseganya ne zigwa butaka olw’okubasaba ssente z’okuteeka omukono ku ndagaano nga teziriiwo.

Bbosa yategeezezza nti yabadde n'ekinyegenyege ekitendeka ttiimu eno kyokka abakungu baamumazeemu amaanyi bwe baamulagidde okutandika okukola nga tebakoze ndagaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...