TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abannemesa okulamula World Cup nabakwasa Katonda - Masembe

Abannemesa okulamula World Cup nabakwasa Katonda - Masembe

Added 26th June 2018

BULI World Cup lw'etuuka, nzijukira erinnya lyange lwe lyaggyibwa ku lukalala lwa baddiifiri abaali bagenda okulamula empaka za 1998 e Bufalansa". Bwatyo Charles Masembe, ddiifiri eyawummula, bwe yatandise emboozi ye, ng'anyumiza GERALD KIKULWE gye nvudde we.

Masembe ng'alaga baddifiiri eky'okukola, mu gimu ku misomo.

Masembe ng'alaga baddifiiri eky'okukola, mu gimu ku misomo.

MASEMBE Y’ANI?

Twazaalibwa abaana mukaaga mu George William Masembe ne Rosemary Nakabugo ab’e Kiweesa Bukulula Masaka.

Pulayimale nnagisomera Kabungo P/S gye nnatuulira P7 mu 1970, ate siniya ne ngi nsomera ku Kako SS. Oluvannyuma nneegatta ku ttendekero lya Uganda College of Commerce (UCC) kati emanyiddwa nga MUBS e Nakawa, gye nnasomera dipulooma mu byobusuubuzi.

Oluvannyuma nga bantikkidde, nnafuuka omusomesa ku ttendekero eryo. Ndi mufumbo ne mukyala wange Janat Masembe bwe tulina abaana 10.

NTANDIKA OMUPIIRA

Omupiira nnagutandikira ku Kabungo P/S era nnali kapiteeni okuva mu P6. Bwe nneegatta ku Kako SS bampeerawo obukulembeze bw'emizannyo, era nga nze kapiteeni wa ttiimu y’essomero okutuuka mu S6.

Ekitone kyantunda, era bwe nnatuuka ku UCC nnabeera minisita w’emizannyo okumala emyaka ebiri gye nnamalayo.

Nga ndi mu mwaka gwange ogusooka, Fisheries FC okuva e Ntebe, yankansa, bwentyo ne nsoma nga bwe nzannya.

Buli nnamba gye banteekangamu nga ngizannya bulungi era nnasambirako mu 2, 6 ne 9.

Kino kyasikiriza Jolly Joe Kiwanuka, eyatandikawo Express FC, n’omutendesi Robert Kiberu okungula ne mbawangulira ekikopo kya liigi.

Bino nnabikolanga bwe nsomesa ku UCC, era bwe nnalondebwa okukulira emizannyo, ne ntandikawo empaka z’amasomero ga yunivasite (Inter College Competitions) omwali Uganda Teachers College Kyambogo, National Teachers College ne UCC.

Oluvannyuma lw’empaka zino okukola obulungi, Rev. Polycarp Kakooza yantwala nkole ng’omuwandiisi w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga, aka NCS ne nkolerayo wakati wa 1978-82.

Rev. Kakooza yansasulira okusoma obukulembeze bw'emizannyo e Bungereza, era emyezi omwenda we gyaggweerako nga nkuguse mu mupiira.

NFUUKA OMUTENDESI

Wakati wa 1982- 84 Patrick Kawooya, eyali Ssentebe wa Villa yantwala okulabirira enkola y’emirimu, nga bwe nnyambako Rogers Nsubuga ng’omumyuka w’omutendesi.

Mu 1984 baategeka omusomo gw’abatendesi ne ngwetabamu wamu ne Moses Nsereko, Asumani Lubowa Pale Oketch, Charles Omigi n’abalala.

Amaka ga Masembe agasangibwa e Nsangi.

Mu 1985, nneegatta ku Bank of Uganda FC eyali ezannyira mu kibinja ekyokubiri okumala sizoni emu ng’omutendesi, ne ngireeta mu liigi ya babinywera.

Mu December 1985 nnaddayo mu Express ng'omutendesi, kyokka oluvannyuma lw'emyezi ebiri gyokka nnawalirizibwa okuvaayo mu February 1986 nga tebagendera ku bye mbalagira, sso ng'abaali bawa ebiragiro bangi.

NFUUKA DDIFIRI

Mu 1983, ddiifiri Edward Senkwangu Ssewagudde, yansindika mu musomo gw'obwaddiifiri e Nakivubo, kuno kwe nnagatta endala mu 1985, olwo mu 1987 ne nnondebwa okulamula eza CECAFA ezaali mu Sudan.

Eno nnakola bulungi ne nnondebwa nga ddiifiri eyasinga banne. Kino kyannyongera enkizo ne nteekebwa ku bagenda okulamula empaka za 1988 Senior Challenge Cup e Malawi, AFCON wa 1994 e Tunisia ne World Cup y’abali wansi w’emyaka 20 mu 1995 e Qatar.

Mu 1989 nga CECAFA yaakaggwa, nnayitibwa okugenda e Kuwait okulamula empaka ez’okuzza emirembe n’okutabagana mu nsi z'Abawalabu, oluvannyuma lw’obutabanguko obwaliyo wakati wa Al Ahly, Zamalek ne Ismaily, sso ng'era nnafuna n'omukisa okulamula mu Asian Cup of Nations mu Emirates, ssaako AFCON ya 1996 eyali e South Afrika.

Ekyasa ekyo kyan- namira era entikko yali yaakulondebwa nga ddiifiri Omufirika eyasinga mu kyasa ekyo.

NSUBWA WORLD CUP

Kyokka siyinza kwerabira mwaka gwa 1998 bwe nnali mu mitambo gy’okulamula semi za AFCON mu Burkina Faso, wakati wa South Afrika ne Congo Brazzaville, ne nnyongeramu eddakiika 8 oluvannyuma lw'e 90.

Kino Issa Hayatou, eyali akulira CAF, eyali ayagala okugenda okulaba semi eyookubiri wakati wa Burkina Faso ne Misiri.

Hayatou yasalawo okuwandiikira FIFA eggye erinnya lyange ku lukalala lwa baddiifiri abaalina okulamula World Cup ya 1998 e Bufalansa, era ekyo sirikyerabira, era wano we nnakomya omulimu gw'okukommonta ffirimbi. Wakati wa 2006 - 2008, FUFA yannonda okukulira emirimu, sso ng'era nnabeerako maneja wa kkampuni ya Peacock Paints, era nzize nkola n'ebirala bingi.

KYE NDIKO KATI

  • Mu budde bwange obw’eddembe nnyumirwa okulaba omupiira wamu n'emisinde, nsoma ebitabo bingi mu kunoonyereza era ndi muweereza mu Kkanisa yange eya St. Mark COU, Nsangi
  • Nze muwandiisi w’akakiiko ak'awamu akaddukanya emizannyo mu Buganda, aka Buganda General Sports Council (BGSC).
  • CAF yaddamu okunteeka ku kakiiko akasunsula, n'okulonda baddiifiri abakkirizibwa okulamula empaka ez’enjawulo mu Afrika. lNdi musomesa era omutendesi w’abatendesi wano ne mu Afrika.
  • Ndi mulimi ate omulunzi w’ebisolo n’ebinyonyi.
  • Mpoomerwa nnyo ettooke, omuceere, n'enkoko, ng'onteereddeko ekinyeebwa ku bbali.

KU MUPIIRA GWA UGANDA

Ebisoomooza bingi naye ng’ekisinga obukulu kya mupiira gwa Uganda kujjula butayagaliza. Twandibadde tuli wala mu nkulaakulana naye buli muntu ayagala kusika ng’azza wuwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.