TOP

Poliisi yeepikira kikopo kya bikonde

Added 29th June 2018

Poliisi yeepikira kikopo kya bikonde

 Sadat Kirwana owa Lukanga (ku kkono) ng'attunka ne Edward Mutebi owa COBAP.

Sadat Kirwana owa Lukanga (ku kkono) ng'attunka ne Edward Mutebi owa COBAP.

KIRAABU ya Police Boxing Club emaliridde okusitukira mu mpaka za National Boxing Intermediates, bw'eyayongedde okuliisa bakirimaanyi akakanja mu bikonde.

Abazannyi ba Police; Dan Rwebuga, Aziz Baluku, Ismail Ssekyete, Hamza Latigo n’abalala, baayongedde okuwumiza bannaabwe ku semi y'empaka zino, ezaabadde ku bbaala ya One 10 e Bwaise.

Dan Kasole, omutendesi wa Police, yagambye nti ku luno waakuyisa mukka mu kisero ng'awangula ekikopo kino kuba abazannyi be yatuusizza ku fayinolo bonna bookya, nga tabasuubira kumuyiwa kuba abawadde obukodyo obw'enjawulo, sso ng'era balina obumanyirivu.

“Tukyakulembedde ttebo ate twatuusizza ttiimu kabiriiti ku fayinolo, era tugenda kukakasa kiraabu ezeeyita kirimaanyi nti tezikyawa,"Kasole bwe yagambye. Police y'ekulembedde ttebo y’abakulu n’obubonero 16, n'eddirirwa UPDF (11), University of Pain (8), Malalo ne Cobap ku 6, sso nga Lukanga Boxing Club y'ekulembedde ey’abavubuka n’abato ku bubonero 12 n’eddirirwa Kololo High ku 7. Fayinolo ezannyibwa ku Ssande ku kisaawe ky'e Katwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...