TOP

KCCA ekansizza Bernard Muwanga

Added 1st July 2018

KCCA FC eyongedde okusokoola SC Villa bw’egisokoddemu kapiteeni waayo Bernard Muwanga.

Agava mu Villa galaga nti Muwanga abadde kapiteeni waayo yeegasse ku KCCA ku ndagaano ya myaka esatu.

Muwanga, nga ye kapiteeni wa Cranes ya CHAN, yeegatta ku Villa mu sizoni ya 2015/2016 ng’ava mu Bright Stars, endagaano ye ebulako emyezi mukaaga kyokka kigambibwa nti baategeereganye yeegatte ku KCCA.

Muwanga, yafuuse kapiteeni wa SC Villa owookusatu okwegatta ku KCCA mu sizoni nnya eziyise. Steven Bengo ye yasooka mu sizoni ya 2014 ate Isaac Kirabira n’agyegattako mu 2016 wadde ye yasooka kuzannyirako Saints.

Omwogezi wa KCCA, Moses Magero yategeezezza ebya Muwanga bikyali kuba tebannabaako kiwandiiko kitongole kye bafulumya.

“Buli kye tukola tulina okuvaayo ne tutegeeza abantu naye kati tetulina kye twakoze,” Magero bwe yannyonnyodde.

Wadde Magero yeegaanyi kyokka ye Muwanga yagambye nti mu kaseera kano muzannyi wa KCCA kuba buli kimu kyawedde era alinze lunaku KCCA lw’eneemuyita atandike okutendekebwa.

“Kituufu nabadde n’endagaano ne Villa kyokka ebyo byawedde era essaawa eno ndi muzannyi wa KCCA era munsabire omupiira ngukube bulungi. Villa mbadde ngyagala kuba erina bingi by’eyongedde ku kitone kyange naye sibadde na kya kukola,” Muwanga bwe yategeezezza.

Ono yafuuse omuzannyi owookubiri KCCA gwe yaakagula nga yeegasse ku Sulaiman Mutyaba gwe yasooka okukansa mu kaweefube w’okwongera okwenyweza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...

Todwong ng'ayogera eri ababaka abalonde olwaleero.

Ababaka abayonsa bagaaniddw...

ABABAKA abayonsa bagaaniddwa okwetaba mu lusirika lw'akabondo ka NRM aka palamenti enkya  e Kyankwanzi, wabula...