TOP

Alabudde baddiifiri ku nguzi

Added 3rd July 2018

MINISITA w’ebyemizannyo e Mmengo, Henry Ssekabembe alabudde baddiifiri abalamula emipiira gy'Amasaza nti bwe baatakomye kugidibaga baakugobwa mu ffirimbi.

 Henry Ssekabembe

Henry Ssekabembe

Busiro 0-0 Mawokota

Ssingo 1-2 Mawogola

Buweekula 2-1 Kabula

Kiddiridde abawagizi n’abakungu ba ttiimu z’amasaza okwemulugunya ku baddiifiri nti balina ttiimu ze battira ku liiso.

Baddiifiri abaabadde ne ssentebe waabwe, Ronnie Kalema wamu n’abakungu b’ekibiina kya FUFA abaakulembeddwa amyuka pulezidenti waakyo, Justus Mugisha baasisinkanye minisita mu kibangirizi kya Masengere n'abalabula ku vvulugu.

Mu kusooka, abasomesa ba CAF; Haruna Kebba ne Ali Tomusange baasomesezza baddiifiri n’okubajjukiza ku mateeka amapya agalamulirwako omupiira.

Mu mipiira gy'amasaza, Mawogola yakubye Ssingo e Mityana, abawagizi ne baagala okugajambula omutendesi George Lutalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...