TOP

Gavumenti eveeyo egogole emizannyo egizing'amye

Added 8th July 2018

Gavumenti eveeyo egogole emizannyo egizing'amye

 NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

NZIZE mbalaga nti waliwo ekikyamu mu Uganda mu mizannyo gyonna okusinga egyo egimanyiddwa mu kuleeta ssente era egiyaayanirwa abawagizi. Emizannyo gyonna egivaamu ssente okuli; omupiira, ebikonde, mmotoka z’empaka, okubaka n’emilala gyonna gyadobonkana mu nzirukanya era guli gumu gulimu ebiwayi.

Naye twebuuze lwaki? Lwaki bonna balwanira obukulembeze? Ani alina okubatabaganya? Era twebuuze lwaki tebatabagana? Ebibuuzo bingi naye eby’okuddamu bitono.

Mu nsi endala wabaddewo obugulumbo nga mu Uganda naye bakikola batya? E Kenya, Rwanda, Tanzania, Sudan, n’ensi endala bonna baali bakaayanyeeko naye kati bassa kimu era bwe batuuka okulonda abavuganya ku ntebe, balonda mu mazima naye wano toyinza kulonda kubanga abali mu bibiina ebyo tebalina mazima ekireetedde ebibiina by’emizannyo okufumbekeramu entalo.

Kino kiviira ddala waggulu ng’abakulembeze balina be baagala mu bukulembeze olw’engabana ye ssente ne kiwa amaanyi obukulembeze obwo okukola buli ekisoboka okulemerawo wadde ng’amazima bagamanyi.

Mbaddeko e Rwanda era balina enkaayana mu bibiina by’emizannyo era Pulezidenti Kagame yabayita mu biti byabwe n’abalagira buli omu ayogere amazima era amazima ne gavaayo kuba bamanyi talina kyekubiira. Entambula y’ebintu tugiraba e Rwanda era bagenda kusaba okutegeka ekikopo ka Afrika balina ebisaawe ebimala naye Uganda yaba ki ate nga ye yabakuza? Somalia egenda kutuyitako.

Erina ebisaawe ebizibibwa FIFA bisatu kyokka omutemwa gwa ssente Somalia z’efuna naffe ze tufuna naye ffe lwaki ebisaawe bitwekubya mpi? Minisita w’emizannyo Charles Bakkabulindi ebyo abimanyi naye tanyega.

Entalo eziri mu ggwanga azimanyi naye tavangayo kwebuuza lwaki ziri mu mizannyo wabula ye awuliriza luuyi lumu. Akimanyi nti waliwo oludda olutuufu olulina okubeerawo n’ebiwandiiko amanyi kye bitegeeza era tasobola kubiwakanya ky’ova olaba nti Maama Janet Museveni tebamukkiriza kubiyingiramu kuba ajja kumanya amazima.

Jesca Alupo eyali minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo bwe yagamanya, abalala badduka, abamu baaswazibwa era nsaba Pulezidenti Museveni aveeyo yeebuuze lwaki buli kibiina ky’emizannyo kirimu okulwanagana.

Asaana ayite abalwanagana amanye ekituufu naye bamulimbye nnyo. Mu poliisi, Kirumira yamala kuvaayo abantu ne bamanya ekiri munda. Pulezidenti alina okwebuuza FUFA Limited bye biki mu mupiira era yeebuze ekiri mu bikonde, obugaali, okubaka n’emizannyo emirala. Kino tekisoboka kugaana era n’enkaayana zijja kuggwaawo. georgesimlala@gmail.com 0702129092NKUBUULIRA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...