TOP

Owa Vipers atuukidde mu kutaasa Mmamba

Added 11th July 2018

SSITA wa Vipers SC, Duncan Ssenninde, abeekika kye ekya Mmamba Kakoboza bagambye nti wadde anaaba mukoowu olw’olugendo lw’e Tanzania gy’abadde mu CECAFA, bagenda kumuzannyisa nga battunka n’Embogo.

 Kapiteeni wa Mmamba Kakoboza, Duncan Ssenninde (ku ddyo) ava mu CECAFA.

Kapiteeni wa Mmamba Kakoboza, Duncan Ssenninde (ku ddyo) ava mu CECAFA.

Leero e Wankulukuku;

Mmamba Kakoboza - Mbogo, 8:00

Ngo - Mpindi, 10:00

Leero, bazzukulu ba Nankere (Mmamba Kakoboza) lwe bubeefuka n’aba Kayiira (Abembogo) mu lusamba olusooka olwa ‘quarter’ z’empaka z’Ebika by’Abaganda.

Ensiike eno eri Wankulukuku. Vipers yakubiddwa Gor Mahia eya Kenya (2-1) ku ‘quarter’ za CECAFA era nga yabadde esuubirwa kukomawo eggulo akawungeezi.

Abakungu ba Kakoboza abakulembeddwa Ssaalongo Henry Kitaka ne ‘Super Lady’ Susan Muwonge, omuvuzi wa mmotoka z’empaka, baagambye nti, “Ssenninde ajja kutuukira mu kisaawe aduumire ttiimu efutize Embogo.”

Yo Embogo egamba nti Nelson Senkatuuka (Bright Stars), Tony Mawejje ne Yunus Sentamu banene nnyo ku Ssenninde.

Nga guno guwedde, bazzukulu ba Muteesaasira (Abengo) baakuttunka n’aba Mazige (Abempindi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...