TOP
  • Home
  • Rally
  • Abavuzi 50 beeswanta mpaka za 'Pearl of Africa'

Abavuzi 50 beeswanta mpaka za 'Pearl of Africa'

Added 20th July 2018

PULEZIDENTI w’ekibiina ekifuga mmotoka z’empaka mu ggwanga (FMU), Dusman Okee, alaajanidde abawagizi obutaddamu kukola ffujjo mu mpaka za ‘Pearl of Afrika ezitandika leero (Lwakutaano).

Pearl of Africa Rally; Lwakutaano e Busiika Lwamukaaga e Kayunga

Abavuzi 50 bagenda kuttunka mu ‘Pearl of Africa Rally’ leero n’enkya ku Lwomukaaga nga balwanira obubonero bw’engule y’eggwanga n’ey’olukalu lwa Afrika.

Leero, basookera mu mpaka ez’omwetooloolo (Sprint) e Busiika olwo enkya ziyiribire mu bitundu by’e Kayunga mu Bugerere.

Okee yagambye nti omwaka oguwedde abawagizi baakola effujjo lingi empaka zino bwe zaali mu kitundu kye kimu (Kayunga) ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna (FIA), ne kirabula okuggya Uganda ku kalenda ya Afrika.

Kyalagira FMU okukoma Omwaka oguwedde, abawagizi baayonoona essamba ly’ebikajjo lya Madhvani erisangibwa e Kayunga bwe baabimenya abamu ne basiba n’ebatwalako n'awaka era nga kyetagisa FMU okusooka okuwandika ebbaluwa nga yeetonda olw’ekikolwa ekyo.

Empaka za ‘Pearl’, zaakuvugibwa ku buwanvu bwa kiromita 508.27 nga 216.26 ze z’okuvuganyizibwako. Munnakenya Manvir Baryan, ye yawangula ez’omwaka oguwedde.

EBIKULU EBYETISSE EMPAKA

ZINO engule ya Afrika Bannakenya Manvir Baryan ne Piero Canobbio bagenda kuba baagala kumalako mpaka zino, basobole okufuna obubonero obutangaaza emikisa gy'okusitukira mu ngule ya Afrika (ARC), kuba emirundi mingi 'Pearl' y'esalawo omuwanguzi waazo.

Baryan, eyawangula ARC omwaka oguwedde ne ku luno y'akyakulembedde ku bubonero 50 ate Canobbio mu kyokubiri alina 29. Kalenda ya Afrika ebuzaayo empaka za mirundi ebiri (ez’e Tanzania n’e Rwanda) nga singa Manvir awangula eza 'Pearl', ajja kuba yeetaaga kumalira mu kifo kyonna mu mpaka ebbiri ezibulayo ku kalenda.

Engule ya Uganda

Jas Mangat (200), Unissan Bakunda (194), Kepher Walubi (180) ne Suzan Muwonge (170), bonna bakyalina omukisa ogusitukira mu ngule y’eggwanga eya NRC.

Mangat yagiwangulako mu 2012, 2013 ne 2016 ate nga Suzan Muwonge yagiwangula mu 2011.

Omwaka guno Bakunda ne Walubi abakyali abapya mu muzannyo, beesomye okuteeka amannya gabwe mu byafaayo by’omuzannyo guno nga bawangula NRC.

Obuwanguzi bwa 'Pearl' busobola okutwala abavuzi abasatu abali wansi wa Mangat waggulu naddala singa alemererwa (Mangat), okumalako.

Subaru ne Mitsubishi

Abawagizi n’abavuzi ba mmotoka zino buli omu agamba nti ekika kye kye kisinga amaanyi.

'Pearl' mpaka za maanyi era nnungi okumalawo eggayahhano mu bantu bano. Mu myaka 17 egiyise, Subaru ebadde yeeriisa nkuuli mu mpaka zino era erinamu obuwanguzi bwa mirundi 10, ate Mitsubishi erinamu mukaaga, ng'omulala ogumu gwa Skoda.

Wabula mu myaka etaano egisembye, Mitsubishi ewanguddemu emirundi esatu ate Subaru gumu. Ku luno ani amegga?

Baryan aneegatta ku Charlie Lubega ne Riyaz Kurji?

Ng’oggyeeko Lubega ne Kurji, teri muvuzi yali awangudde mpaka zino mirundi ebiri egy'omuddirihhanwa. Lubega yawangula mu 2003 ne 2004 ate Kurji n’awangula mu 2005 ne 2006.

Baryan, alina engule eno, naye anaasobola okugenda mu byafaayo?

Ssebuguzi alwanyisa kikwa

Mu myaka esatu egiyise, Ronald Ssebuguzi abadde tawangula mpaka za 'Pearl', wabula ku luno agamba ayagala kweggyako kikwa kino ng’aziwangula, oba okumalira mu bifo ebisatu ebisooka.

Ku ngule ya NRC ali mu kyakutaano n’obubonero 150 nga singa awangula, naye asobola okwegatta ku bagirwanira.

ABAVUZI BEERALIIKIRIVU

Oluvannyuma lwa sseeti y’essaawa emu okufa, abavuzi abamu balaze obweraliikirivu eri engeri abakuuma obudde gye bagenda okutambuzaamu emirimu gyaabwe mu mpaka zino.

FIA, ekibiina ekuddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna, kyaweereza Uganda essaawa eziri ku ddaala ly’ensi yonna wabula, mu mpaka z’e Fort Portal ezaaliwo mu June emmotoka ya Peter Kalule yatomera seeti emu n’eyonooneka.

Essaawa zino bwe zaali tezinajja, abavuzi bangi beekwasanga abakuumi b’obudde okubbira abalala era na kati baatandise dda okulaga obweraliikirivu bwaabwe.

“Luli baatubbanga kati ku luno kinaabeera kitya ng’essaawa teziriwo?" abamu ku bavuzi bwe beebuzizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo