TOP

Munnakenya aleebezza mu luvuga olusoose e BusiikaManvir

Added 22nd July 2018

Munnakenya aleebezza mu luvuga olusoose e BusiikaManvir

 Manvir ng’ayiribya mmotoka ku Lwokutaano.

Manvir ng’ayiribya mmotoka ku Lwokutaano.

Abavuzi bwe baakoze mu lukontana olwasoose;

  1. Manvir Baryan 0:8:33 2. Jas Mangat 0:8:53 3.
  2. Ronald Sebuguzi 0:8:57 4.
  3. Duncan Mubiru 0:9:05 5.
  4. Adam Rauf 0:9:07
  5. ABAVUZI ba mmotoka z’empaka beeraze ebyuma ku lunaku lw’empaka za Pearl of Africa Rally olwasoose (Lwokutaano) olwabadde e Busiika. Baavuganyizza ku buwanvu bwa kkiromita 8 nga tebannayolekera bitundu by’e Kayunga gye battunkidde mu lunaku olwokubiri eggulo (Lwamukaaga).
  6. Munnakenya Manvir Baryan ayagala okuwangula engule ya Afrika (ARC) omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa yalaze nti engule gy’agoba agisaana bwe yakeesezza Bannayuganda ebyuma.
  7. Manvir, yasinze Jas Mangat eyamuddiridde sikonda 20. Wabula wadde nga gwabadde bwe gutyo, abawagizi b’abavuzi ba Uganda baafunye essuubi nti ob’olyawo bayinza okumulemesa engule ya Pearl kuba okusinziira ku budde bwe yabasinga omwaka oguwedde, ku mulundi guno baabutoddeko. Yabasinga eddakiika nnamba okuva ku lunaku olusooka.
  8. Mu mpaka zino, ekyasinze okuwa Bannayuganda essuubi kye ky’okuba nti abavuzi ba wano bonna be, baamalidde mu bifo omusanvu ebisooka nga beetaaga kwolesa mutindo gwe gumu oba ogusingawo eggulo (Lwamukaaga) okusigala nga bavuganya bulungi. “Waakiri tulaze kye tulinawo kuba omwaka oguwedde Manvir yatuyisa bubi nnyo kyokka leero tufubye. Singa tusigala bwetutyo, tusobola okumulemesa ez’omwaka guno,” Omu ku bawagizi bwe yagambye ku Lwokutaano.
  9. Wabula abawagizi ba Unissan Bakunda, empaka z’omulundi guno zaabasaze mmotoka y’omuvuzi waabwe bwe yagaanyi okusimbula n’awanduka. Kino kyasannyalazza emikisa gye okusitukira mu ngule ya NRC. Emirundi mingi, omuwanguzi wa Pearl of Africa Rally abeera n’emikisa mingi okuwangula engule ya Afrika n’eya Uganda eya NRC. Kitegeeza nti Bakunda ebibye bibi ku ya NRC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...