TOP

SsimwogerereEnkima eyagga ssente

Added 22nd July 2018

SsimwogerereEnkima eyagga ssente

 Ttiimu y'Enkima.

Ttiimu y'Enkima.

BAZZUKULU ba Mugema (Abenkima) balaajanidde abazirakisa babajune ne ssente ezinaabasobozese okuzannya semi y’emipiira gy’Ebika ez’omwaka guno.

Enkima yaggyeemu Emmamba Gabunga ku ‘quarter’ kyokka abaddukanya ttiimu yaayo bagamba nti bandiremwa okuzannya ogw’Effumbe ku Lwokusatu kuba ssente zibeekubya mpi.

Mu bye beetaaga okuyambibwako mulimu; ssente z’entambula y’abazannyi, obujjanjabi bw’abazannyi abazze bafunira obuvune, ebyokulya n’okunywa n’ensako y’abazannyi.

Henry Ssali, omu ku bali ku ttiimu eno yalaajanidde abagagga b’Enkima okuli; Hamis Kiggundu (Ham), Hajji Mutaasa Kafeero, Loodi meeya Ssaalongo Erias Lukwago, omuyimbi Moses Ssali (Bebe Cool) n’abalala okubadduukirira mu mbeera eno. “Tusaba bazzukulu baffe bonna batudduukirire kuba embeera gye tuyitamu si nnyangu ate nga twagala Ekika kyaffe kiwangule Engabo y’omwaka guno,” Ssali bwe yalaajanidde abeddira Enkima.

Omutendesi w’Enkima, Andy Ssali yategeezezza nti ttiimu ye erina abazannyi abalungi abasobola okuwangula Engabo kyokka babulako bantu babakwasizaako. Enkima eyasemba okuwangula Engabo mu 1993, etendekerwa ku kisaawe kya Lubiri High.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...