TOP

Mutebi tazimba KCCA FC

Added 30th July 2018

MIKE Mutebi awezezza sizoni ssatu ng’atendeka KCCA FC. Awangudde ebikopo bya liigi (2)n’ebya Uganda Cup (2) sso nga agitutte mu bibinja bya CAF Confederation Cup ne CAF Champions League.

 Mike Mutebi, atendeka KCCA FC

Mike Mutebi, atendeka KCCA FC

Mu mpaka z’Afrika, KCCA ya Mutebi tewangulirangako wadde okulemaganira ku bugenyi.

Ku Lwomukaaga yakubiddwa Esperance eya Tunisia (1-0) n’esigala ng’ekoobedde mu kibinja ky’eza Afrika.

Buli sizoni, Mutebi atunda n’okugoba abazannyi era asuubiza nti akolerera kuwangula ku bikopo by’Afrika. Ekibi, buli sizoni atundayo omuzannyi asinga omugaso!

Yatunda Joseph Ochaya, Geoffrey Serunkuuma, Derrick Nsibambi kwe yagasse Mohammed Shaban.

Olw’okuba KCCA erina omusimbi oguvuluuja, ewangula ebikopo naye nga si lwa bulungi nnyo bwa mutendesi, wabula lwakuba ng’abazannyi tebajula mu byetaago (motivation). Abazannyi ba Villa oba Express gye babanjiza omusaala gw’emyezi egisoba mu ena, aba KCCA basangayo ogwabwe buli mwezi.

Wano KCCA w’ezibeererako enkizo y’okuwangula ebikopo. Mu myaka esatu, Mutebi aguze abazannyi abawedde ku mpagala nga Robert Ssentongo, Serunkuuma, Vincent Kayizzi, Brian Majwega, Saddam Juma, Herman Wasswa, Isaac Muleme, Mike Mutyaba ne Muwada Mawejje.

Yagula Shaban Kondo, Isaac Serunkuuma, Godfrey Sembatya, Dan Nsubuga, Farouk Matovu, Martin Mpuuga, Faouk Kawooya, Nelson Senkatuuka, Ceasar Okhuti, Shaban, Tito Okello, Allan Oryek, Ronald Musana ne balemwa n’okuweza sizoni mu ttiimu! Mutebi agula atya abazannyi abamaze sizoni 10 nga batabaala kiraabu (Ssentongo, Serunkuuma, Kayizzi, Majwega, Saddam, Mutyaba, Mawejje n’abalala)! Abamu nga Serunkuuma baayaka naye era si be bandiguliddwa omutendesi eyeewaana n’ennono y’okusambisa bamusaayimuto.

Okuggyako ng’abakungu ku lukiiko lwa KCCA olufuzi bafunye amaanyi agakunya Mutebi, ajja kusigala ng’ali ku ‘ssengavuddemu ngazzeemu’ era ttiimu eno terina kya maanyi ky’ejja kukolanga mu Afrika.

Ejja kuwangulanga ebikopo by’awaka olw’omusimbi gw’evuluugizaamu sso si lwa bukugu bwa mutendesi.

kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...