
Yagula Van Djik mu Southampton ku pawundi obukadde 75 n’afuuka omuzibizi asinga ebbeeyi, sso nga omwezi oguwedde, yaguze Allison Becker pawundi obukadde 65, nga kati ye mukwasi wa ggoolo asinga bbeeyi mu nsi yonna.
Omutendesi Jurgen Klopp 51, yajja mu Liverpool mu 2015 era waliwo abamukontoleddewo nti ssente ze zonna zigenda kufa ttogge nti talina kikopo kya muzinzi kye bagenda kuwangula. Waliwo abakimussaako nti wa kisiraani kuba awanguliddwa nnyo ku fayinolo.
Mu 2017, yakubwa Sevilla ku fayinolo ya Europa sso nga sizoni ewedde, yawanguddwa Real Madrid ku fayinolo ya Champions League.
Okujja mu Liverpool mu 2015, Klopp yasikira Brendan Rodgers era ttiimu gye yasangawo yakola bubi n’emalira mu kyamunaana mu Premier.
Mu sizoni ye esooka enzijuvu (2016-17), Liverpool yamalira mu kyakuna ng’ekifo kye kimu kye yakutte sizoni ewedde. Obubonero bwonna bulaga nti Liverpool erinnye nnyo omutindo bukya Klopp agikwatamu.
Mu sizoni ya 2016/17, Coutinho ne Sadio Mane, abaasinga okuteebera Liverpool baalina ggoolo 26 omugatte sso nga Diego Costa ne Eden Hazard abaasinga okuteebera kyampiyoni Chelsea, baalina 36.
Sizoni ewedde, Klopp yaleeta Salah era ye ne Firmino, baateebye ggoolo 47 sso nga Aguero ne Sterling aba kyampiyoni Man City baateebye 39.
Bwino ono yenna alaga nti Liverpool eremwa ebikopo lwa kuteebwa nnyo naye nga yo ggoolo eziteeba.
Okujja kwa Van Dijk kwaggumizza ekisenge kyokka nga bwe twalaba ku fayinolo ya Champions League n’emipiira egisinga mu Premier, omukwasi wa ggoolo ye yakubyanga Liverpool.
Klopp bwe yeekuula pawundi obukadde 65 n’agula omukwasi wa ggoolo, okakasizza ddala nti ali ku mulamwa.
Takomye ku kugumya kisenge na miti gya ggoolo, naye ne ttiimu agyongeddemu Naby Keita, Shaqiri ne Fabinho.
Salah, Firmino ne Mane bwe kubaako alwala, Shaqiri oba Strurridge alabika ng’akomyewo ku mutindo, basobola bulungi okujjuza ebifo byabwe. Liverpool ejja kuwangulayo ekikopo eky’omuzinzi sizoni eno.
kkawuma@newvision.co.ug 0772371990