TOP

She Cranes esitudde okugenda e Zambia

Added 9th August 2018

She Cranes esitudde okugenda e Zambia

 She Cranes ng'estulaokugenda e Zambia leero

She Cranes ng'estulaokugenda e Zambia leero

Bya Gerld Kikulwe
 
AMYUKA Ssaabawandiisi wa National Council of Sports(NCS) Dr.Benard Ogwel asiibudde ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okugenda e Zambia n’abafalaasira okuzza ekikopo ku butaka ate n’okwesogga ekikopo ky’ensi yonna.
 
Ekibinja ky’abazannyi  12 basiibuddwa okugenda okukiikirira Uganda mu mpaka za African Netball Championships 2018 ezigenda okuyindira mu kibuga Lusaka e Zambia wakati wa August 13 ne 19 oluvannyuma lw'okumala wiiki ssatu mu nkambi e Lugogo  era wano Dr.Ogwel we yasinziiridde n’abakuutira okuzannya nga bali wamu okulaba nga bakomyawo kye baawangula omwaka oguwedde.
 
She Cranes ng’esitula mu kiro ekikeesa olwokuna mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines yaakubbinkana n'ensi 7 okuli Kenya, Namibia, Botswana, Malawi, Zimbabwe ne Zambia abategesi era empaka zino ze zigenda okukola ng’ezokusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna eza Netball World cup 2019 ezigenda okutegekebwa Bungereza mu kibuga Liverpool.
 
“She Cranes ezze ekola erinnya era kati twagala mugende muteekewo okuvuganya okulaba nga tukomyawo ekikopo kyaffe,tusiguukulule Malawi mu kifo ekyokubiri mu Africa ate twesogge ne World Cup naye nga kino mulina kikola nga muli kitole,” Ogwel bwe yategeezezza.
 
Uganda abalina ekikopo ky’okubaka bakwta kifo kya kusatu emabega wa South Africa ne Malawi mu Afrika ate mu nsi yonna ekwata kya 6.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...