TOP

Ttiimu ya Basketball esitidde okugend a Mozambique

Added 10th August 2018

Ttiimu ya Basketball esitidde okugend a Mozambique

 Ttiimu ng'esitula okugenda e Mozambique

Ttiimu ng'esitula okugenda e Mozambique

TTIIMU ya Uganda ey’abawala abatasussa myaka 18 abagenze e Maputo ekya Mozambique okuzannya U18 African Women Basketball Championship,akalulu kabasudde mu kibinja B omuli Mali abalina ekikopo kino.

Uganda yayitawo okuzannya mu empaka z’Afrika oluvannyuma lw’okumalira mu kifo ekyokubiri mu mpaka za Regional  Zoon V U18 East African  Championship ezaayindidde e Tanzania omwezi oguwedde, nga Rwanda  ye yeetikka empaka zino ku nsi 4 ezeetabamu  era ababiri bano be bagenda okukiikirira olukalu lwa East Africa.

Uganda yaakubbinkanira mu kibinja B omuli Mali, Angola ne Democratic Republic of Congo era buli ensi yaakuzannya ne ginnaayo ku mwetoloolo ogusooka ng’omuwanguzi w’empaka zino waakiika mu FIBA U19 Women’s World Cup

Guno mulundi gwa kusatu Uganda okwetaba mu mpaka zino ng’ogwasooka 2008 tebaava mu kibinja, 2016 bakwata kifo kya 8,ku luno baagala kucuusa byafaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?