TOP

Basena y'anazza SC Villa ku maapu?

Added 11th August 2018

ESSANYU katono litte abawagizi ba SC Villa ttiimu yaabwe bwe yawangudde URA (1-0) mu mpaka za ‘Pilsner Super 8’ ku Lwokuna.

Mu Pilsner Super 8; SC Villa 1-0 URA

Ekyasinze okunyumira abawagizi gwe mupiira ogw’akawoowo Villa gwe yazannye ogwalese abawagizi nga bagamba nti ttiimu eriwo esinga eya sizoni ewedde.

Obuwanguzi buno, bwayambye Villa okwesogga semi z’empaka zino era abawagizi baavudde e Namboole n’essuubi nti ttiimu yaabwe egenda kuvuganya ku bikopo bya sizoni eno.

Mu ttiimu eyakubye URA, Ambrose Kirya yekka ye yabaddemu sizoni ewedde.

Bakira abawagizi bayimba ennyimba ezisuuta abazannyi n’omutendesi Moses Basena nga bagamba nti bwe bagendera ku mutindo guno, ajja kubawa essanyu. Ggoolo ya Villa yateebeddwa Ajab Abraham mu kitundu ekisooka.

BASENA YE MULOKOZI WA VILLA?

Omutindo gwa Villa gwalese bangi beebuuza oba nga y’anaabeera omununuzi wa Villa.

Ttiimu eyaliwo sizoni ewedde, kumpi yonna yagenda era abazannyi abaliwo kati, Basena yalonderedde balonderere n’akola ttiimu.

Abazannyi okuli; Bernard Muwanga, Nicholas Kasozi, Godfrey Lwesibawa, Martin Kizza n’abalala baayabulidde Villa.

Ekyolekedde Basena mu kaseera kano nga liigi tennatandika kwe kulaba ng’abazannyi bongera okussa obukodyo bwe mu nkola basobole okuwangula liigi.

Guno gwe gwabadde mupiira gwa Basena ogusooka mu ttiimu eno sso nga gwe gwasoose bukya akakiiko ak’ekiseera akakulemberwa Ying. William Nkemba kakwata buyinza.

Basena yagambye nti musanyufu olw’omutindo ttiimu ye gwe yalaze n’asuubiza okwongera okuwawula abazannyi bano batuuke mu liigi nga basaza kimu.

“Abantu basuubire okulaba ku bitone ebirala kuba ntegese ttiimu egenda okubawa essanyu. Ndi musanyufu olw’abazannyi bange nga bazannyira ku biragiro gye nabawadde,” Basena bwe yagambye.

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, Edgar Watson akulira emirimu mu FUFA, Sebastien Desabre omutendesi wa Cranes n’abakungu abalala omupiira guno baagulabye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...