
Bya Joseph Zziwa
Enkya mu za AFCON
Uganda-Djibout(saawa 8)
Ethiopia-Kenya(saawa 10)
Rwanda- Tanzania(saawa 10)
NEWANKUBADDE nga Uganda ebadde etaddewo omutindo ogwenjawulo bweyakubye South Sudan ggoolo 6-1 ku lw’okutaano ne Kenya 3-1 ku Sunday,okukiika kwayo mu z’akamalirizo kusigadde mu bibalo.
Uganda eri mu kyakusatu n’obubonero 6 ne ggoolo 6 wansi wa Kenya erina obubonero bwe bumu ne ggoolo 11 nga Ethiopia yekulembedde ekibinja B n’obubonero 9 ne ggoolo 9 ate ekibinja A kikulembeddwa Tanzania(6), Rwanda(3).
Kino kitegeeza Uganda esabirira Kenya ekube Ethiopia ku njawulo ya ggoolo emu ate yo ekube Djibout ku njawulo ya goolo 7 ekintu ekitali kyangu kuba Ethiopia ly’egwanga eritannakubwamu wadde nga Uganda eyinza okukuba Djibout ggoolo ezo.
Ttimu ezinaaba zikulembedde ebibinja zakuzannya mu z’akamalirizo olwo kuveeko emu eneegatta ku mawanga amalala musanvu okuva mu Ligyoni endala mpozzi ne Tanzania ayitawo obutereevu nga omutegesi,bano bebejja okuvuganya mu z’akamalirizo omunaava ensi 4 eninaakika mu z’ensi yonna ezinaaba mu gwanga lya Peru mu 2019.