TOP

Mutebi yeetegekera fayinolo ya kikopo kya Pilsner

Added 24th August 2018

Mutebi yeetegekera fayinolo ya kikopo kya Pilsner

 Mike Mutebi

Mike Mutebi

Pilsner Super 8 Final – Saturday 3:00 PM

KCCA v Onduparaka – Wankulukuku

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi agambye nti wadde ng’ansimbi eziwakanirwa mu mpaka za Pilsner Super 8 ntono ddala, kiraabu zufunyemu naddala olw’okuzisobozesa okutandika okwegekere liigi nga bulyali.

Agambye era nti omupiira gwabwe nga bakyaza Onduparaka ku fayinolo ya Pilsner Super 8 zaakubayamba okufuna obuvumu n’okugezesa abasambi nga beetegekera omupiira gwa CAF Champions League ogusembayo bwe banaakyalira Al Ahly eya Misiri ku Lwokubiri olujja.

“Onduparaka ttiimu nnungi esambye fayinolo eziwerako. Omupiira guno si gwakusaaga kubanga ng’ojjeeko ekikopo, gugenda kuyamba ttiimu okwetegekera Al Ahly era nga gwe gugenda okufundikira sizoni ya KCCA FC eya 2017/18. Abateekamu ensimbi basaanye okwongeramu kubanga okusamba omupiira ogumu buli kiraabu eteekamu ensimbi ezisoba mu bukadde bisatu,” Mutebi bw’ategeezezza.

Omuwanguzi waakufuna obukadde 10 ate owokubiri afuye 5 nga baakusambira Wankulukuku.

Ye Asafh Mwebaze eyaakamala ku Onduparaka wiiki emu yokka ategeezezza nti ekibuga Arua kyonna kirinze buwanguzi era abawagizi baakugwa eddalu singa ttiimu ewangula.

“Absambi n’abawagizi omupiira bagwetegekedde. Ttiimu yatuuse mu Kampala ku Lwokuna era we tunaatuukira enkya ku Lwomukaaga nga bawummudde ekimala. Bbo abawagizi bati bali mu kkubo era nga banonye kikopo. Wabula abasambi bange okuli Gardinho Gadafi ne Ceaser Okhuti tebaliimu lwa buvune.

Abawagizi baakusasula 5,000/=, 10,000/= ne 20,000/=.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...