TOP

KCCA ne Onduparaka balwanira kikopo kya 'Pilsner Super 8'

Added 25th August 2018

OMUTEEBI wa KCCA FC, Patrick Kaddu, awera kwabya eyali mukama we, Asaph Mwebaze ku fayinolo ya Pilsner Super 8 awangule ekikopo ekyokubiri mu sizoni bbiri ez'omuddirihhanwa.

Omupiira guno gwakubeera Wankulukuku leero ku Lwomukaaga era ttiimu zombi zeeswanta kuyingira mu byafaayo nga kyampiyoni asoose okuwangula ekikopo.

Kaddu yazannyira Maroons FC okuva nga muto, wansi w’omutendesi Asaph Mwebaze eyaakeegatta ku Onduparaka, era agamba nti omupiira guno mukulu nnyo mu bulamu bwe kuba ayagala kubalirwa ku ttiimu egenda okusooka okuwangula ekikopo kino, ate awangule ekikopo kye ekyokubiri oluvannyuma lw’okuwangula Uganda Cup sizoni ewedde ne KCCA.

“Kibeera kizibu okutunuza mu kitaawo omudumu gw’emmundu naye tewali kyakukola kuba wano ndi ku mulimu," Kaddu bwe yategeezezza.

Empaka zino zaatandikibwawo FUFA omwaka guno nga zeetabwamu ttiimu munaana okuli; omukaaga ogwakulembera liigi ya babinywera, n'ebbiri ezeesogga 'Super' butereevu okuva mu 'Big League'.

KCCA okutuuka ku fayinolo yawandulamu Nyamityobora ku ggoolo 4-0, ate Onduparaka n’ekuba SC Villa 5-4 eza peneti, oluvannyuma lw’eddakiika e 90 okuggwa nga buli ludda lubala ggoolo 1-1.

Omwenge gwa Pilsner, okusogolwa kkampuni ya Uganda Breweries, gwe gussa ensimbi mu mpaka zino, era ng'oggyeeko ekikopo, omuwanguzi waakuweebwa obukadde 10, ate owookubiri aweebwe 5,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...