TOP
  • Home
  • Mupiira
  • KCCA esitukidde mu kikopo kya Pilsner Super 8

KCCA esitukidde mu kikopo kya Pilsner Super 8

Added 26th August 2018

KCCA FC emezze Onduparaka ku fayinolo ya Pilsner Super 8 Cup ekisoose ng’agikubye ggoolo 2-0 n’esitukira nemu kavu wa bukadde 10.

 Abasambi ba KCCA FC nga bakwasiddwa ekikipo kya Super 8 Cup kye baawangudde nga bakubye Onduparaka 2-0 ku fayinolo e Wankulukuku Aug 25 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abasambi ba KCCA FC nga bakwasiddwa ekikipo kya Super 8 Cup kye baawangudde nga bakubye Onduparaka 2-0 ku fayinolo e Wankulukuku Aug 25 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

BYA SILVANO KIBUUKA

Pilsner Super 8 Cup Final:

KCCA FC 2 – 0 Onduparaka

Onduparaka abakutte ekyokubiri bavuddeyo n’ensimbi obukadde butaano, so ng’abaavaamu ku semi, SC Villa ne Nyamityobola baafunye obukadde busatu n’ekitundu.

URA, BUL, Ndejje University ne Kirinya Jinja SSS abaavaamu ku luzannya olusooka baafunye obukadde bubiri buli ttiimu.

Omutendesi Mike Mutebi yategeezezza nti obuwanguzi bumwongedde naye obuvumu nti baakumegga ttiiimu ya Al Ahly eya Misisi gye bagenze okukwatagana nayo mu luzannya lwa CAF Champions League olusembayo mu bibinja wadde nga yawanduka dda.

“Ttiimu esambye bulungi okujjako nti Onduparaka etunyigirizza nnyo mu kitundu ekyokubiri. Nsubira abasambi obuvumu bwe bagenze nabwo bujja kutuwa obuwanguzi ku bugenyi e Misiri. Empaka ziyambye okwetegekera liigi amangu naye abategesi basaana okuwa kiraabu ezeetabamu ensimbi ez’okwetegeka,” Mutebi bwe yategeezezza.

 Ye omutendesi wa Onduparaka Asaf Mwebaze yagambye nti ttiiimu ye yasambye n’ematiza abawagizi wadde teyawangudde era emuwa essuubi okumalira mu kifo ekirungi mu liigi ya Star Times.

“Abasambi baakoze ensobi mu ddakiika eya 33 ne 37 ne batuteeberamu ggoolo. Ensobi yagoloddwa ne tunyigiriza KCCA wadde tetwawangudde. Zituyambye okulaba we tuyimiridde liigi w’eneetandikira,” Mwebaze bwe yategeezezza.

Omuwuwuttanyi wa Onduparaka FC Viane Sekajugo ye yalondeddwa okunywa mu banne akeendo mu kwolesa ekitone ate Patrick Kaddu owa KCCA ye yasonze okuteeba ku ggoolo bbiri.

Kino kye kikopo kya FUFA Super ekisoose nga kyetabiddwamu ttiimu munaana okuli mukaaga ezaakulembedde mu liigi n’ebbiri ezaavudde mu Big League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...