TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Maroons FC ekansizza abazannyi 11 omulundi gumu!

Maroons FC ekansizza abazannyi 11 omulundi gumu!

Added 27th August 2018

OMUTENDESI wa Maroons FC omuggya mu liigi ya ba binywera George “Best” Nsimbe azze n’ankuba mpya okuddaabulula ttiimu eno bw’aguze abazannyi 11 abaludde mu “Super” n’abaleeta omulundi gumu.

 Nsimbi ng'atendeka abazannyi abapya be yakansizza

Nsimbi ng'atendeka abazannyi abapya be yakansizza

Nga Liigi y’eggwanga Star Times Uganda Premier League eggyibwako akawuuwo ku ntandikwa y’omwezi ogujja, ttiimu zonna 16 ziri mu kaweefube wa kwetereeza okulaba nga sizoni ezisanga ziggumidde.

Nsimbe agamba nti ttiimu ya Maroons ebaddemu abaana abato bangi nga tebasobola kumalira mu bifo bisava mu Liigi kwe kusalawo okwongeramu bano abalina obumanyirivu okuli Yubu Bogere (SC Villa), Seif Batte (Bright Stars), Dan Wagaluka (Water FC),Herman Wasswa (URA FC), Brian Majwega(URA FC), Martin Mpuuga (Police FC), Sulaiman Majanjaalo (UPDF FC), Abdu Rahman Andima (Doves all Stars), Mohammed Kyeyune(Kayosa FC), Brian Chrisp(Arua FC) ne Samuel Ssemitego.

“Twagala kumalira mu bifo ebitaano ebisooka sizoni ejja y’ensonga lwaki ndeese abazannyi bano abalina obumanyirivu mu Liigi okuggumiza n’okuwanirira abato olwo ttiimu eveemu omwasi,” Nsimbe bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde Maroons FC yamalira mu kifo kya 10 n’obubonero 37 mu mipiira 30 wansi w’omutendesi Asaph Mwebaze eyeegasse ku Onduparaka FC wiiki ssatu emabega.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...

Ssentebe Mugabi (wakat)i ng’asala keeki n’abamu ku bannamawulire abasakira Mu Greater Masaka.

Ssentebe w'e Rakai asiibudd...

Ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi  asiimye bannamawulire abakolera mu Greater Masaka n'agamba...

▶️ Obubonero bw'alwadde eki...

Obubonero bw'alwadde ekiyongobero Wano mu Buganda abakazi balowoozebwa okubeera abagumu mu buli mbeera, era...

Weetegereze bino ng'onoolunda embuzi.

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oya...

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oyawulamu ebika by'embuzi ez'enjawulo.