TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes ya U17 yeesozze empaka za AFCON 2019

Cranes ya U17 yeesozze empaka za AFCON 2019

Added 27th August 2018

PULEZIDENTI wa FUFA Eng Moses Magogo atenderezza omutindo ttiimu ya Uganda ey’abatasussa myaka 17 ”Cubs” gwe yayolesezza mu mpaka z’okususulamu abanakiika mu za Afcon ez’akamalirizo .

 Ttiitmu ya Cranes U17 nga baakatuuka ku kisaawe. Baakomyeyo na buwanguzi bwe baakubye Ethiopia ggoolo 3-1

Ttiitmu ya Cranes U17 nga baakatuuka ku kisaawe. Baakomyeyo na buwanguzi bwe baakubye Ethiopia ggoolo 3-1

PULEZIDENTI wa FUFA Eng. Moses Magogo atenderezza omutindo ttiimu ya Uganda ey’abatasussa myaka 17 ”Cubs” gweyayolesezza mu mpaka z’okususulamu abanakiika mu za Afcon ez’akamalirizo .

Bino Magogo yabyogeredde ggulo ku kisaawe Entebbe bwebaabadde bayozaayoza ttiimu eno okusitikira mu kikopo bweyatimpudde Ethiopia 3-1, ono yategeezezza nga bino bwebiri ebibala by’okusalawo FUFA kweyokola okuteekawo Liigi y’abato era nerifuuka tteeka ku buli ttiimu ya Super okuba ne ttiimu y’abato era mu liigi eyo mwemwalondwa ttiimu ereese ekikopo,yayongeddeko nti eno ye ttiimu kwebagenda okusinziira okuzimba ttiimu kabiliiti eritwala Uganda mu z’ensi yonna

Uganda eyabadde wansi w’omutendesi Peter Onen ng’amyuukibwa Hamza Lutalo ne Mubarak Kiberu, yakubye Ethiopia 3-1 mu z’akamalirizo bwetyo neyegatta ku Tanzania eyali yayitawo edda nga omutegesi nga zino zakwegatta ku mawanga amalala mukaaga okuva mu Ligyoni endala olwo basindane mu z’akamalirizo nga 12/May/2019 mu Tanzania nga muno mwe munaava amawanga ana aganaakikirira Africa mu z’ensi yonna nga 5/October/2019 mu gwanga lya Peru.

Okutuuka wano Uganda yava mu kibinja B nga eri mu kyakubiri n’obubonero 9 wansi wa Ethiopia(12) ng’abalala kwaliko South Sudan,Djibout ne Kenya,omupiira ogumu gwokka Ethiopia gweyakuba Uganda ku goolo 1-0 mu ntandikwa kata gugiggye mu kibalo kuba yatuuka ekiseera nga eri mu ssaala za gundi bwankubira gundi wabula katonda n’ayamba Kenya ne bagikuba omupiira ogwasembayo bw’etyo Uganda ne Ethiopia nezesogga Semi nga Uganda yaggyamu Tanzania ku 3-1 ate Ethiopia neggyamu Rwanda ku 2(4)-2(2)

Wano omutendesi Peter Onen weyasinziira n’ategeeza nga Ethiopia bwetayinza kumuddamu gwakubiri mu mpaka z’ezimu nga yali wakusinziira ku bunafu bweyabazuulamu mu mupiira ogwasooka saako n’okukutira abazannyi be obutaddamu kwonoona mikisa nga bwegwali mu gwasooka.

Okuwera kwa Onen kwatuukiridde Uganda bweyakubye Ethiopia goolo 3-1 ezaatebeddwa Samson Kasumba ne Iddi Abdul Wahid(2) nga eya Ethiopia yateebeddwa Wondimagegn Bunaro bwetyo Uganda nesitukira mu kikopo .

Guno gwegwabadde omulundi ogwasoose amawanga okuvuganyiza mu zooni omuli North, West A,West B,Central,Central East ne South nga mu buli zooni waavuddeyo egwanga limu okuggyako eya Central East omwavudde Uganda ne Tanzania nga omutegesi ne West A omuli Mali eyawangula eza 2017

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...